TOP

Chaka chaka alayidde okudda mu Uganda ayimbe

By Muwanga Kakooza

Added 3rd January 2020

OMUYIMBI w’e South Afrika Yvonne Chakachaka eyalemeseddwa okuyimba mu ‘Nkuuka’ eyabaddemu ne Kabaka oluvannyuma lw’abobuyinza mu Uganda okumutikka ku nnyonyi ne bamuzza ewaabwe alayidde nti ajja kudda mu Uganda ayimbe.

Images1 703x422

‘’Mbakakasa nti nja kudda mu Uganda nnyimbe kuba eno (Uganda) nsi yange’’ Chakachaka bwe yawandiise ku mukutu gwe ogwa Twitter.

N’awakanya ebyamwogeddwaako nti baamufulumizza Uganda ku kifuba . N’ategeeza nti n’abebyokwerinda abaamukutte tebaabadde bakambwe ggyali.

Chakachaka eyakyaka ennyo olw’ennyimba ze  nga ‘’Mukombooti’ n’endala abadde atera okujja mu Uganda n’akola ebivvulu.

Wabula ku mulundi guno  yabadde azze kuyimba mu kivvulu kya Nkuuka ekimalako omwaka 2019 ekyabaddeko ne Kabaka mu Lubiri e Mmengo kyokka teyakiriziddwa kuyimba.

Kigambibwa nti chakachaka  abadde ayitiridde okuwanawna  Bobi Wine ng’amuyita’Mandela wa Uganda’. Bobi Wine mu bubaka bwe ku nsonga eno ku Twitter yagambye nti abawagizi ba People Power ebweru wa Uganda nabo batandise okuyiganyizibwa. N’agamba nti Chakachaka yagobeddwa mu Uganda kuba gavumenti etya ennyimba ze ezikwata ku bantu okwerwanako okufuna eddembe.

Omwogezi       wa poliisi Fred Enanga yagambye nti Chakachaka yabadde azze mu Uganda ng’akozesezza viiza ya kujja kukyala wano bukyazi sso ssi kukolera wano kyokka ne kizuulibwa nti yabadde azze kuyimba. 

Yagambye nti Chakachaka bw’anakomawo okuyimba n’agyira mu mitendera emituufu ne viiza entuufu ajja kuyimba.

Kyokka Bobi Wine yagambye nti ab’ebyokwerinda ne bwe banaawa ensonga zitya ekituufu kiri nti gavumenti etya ennyimba za Chakachaka. Chakachaka yagambye nti ebya viiza bye bamusaako tabimanyi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu...

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu ggiya

Set1 220x290

Museveni awabudde ku nteekateeka...

Museveni awabudde ku nteekateeka y’ettaka eneegaggawaza Bannayuganda

Tip2 220x290

Abbye abaana babiri n’abatwalira...

Abbye abaana babiri n’abatwalira muganzi we

Top2 220x290

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso...

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso e South Africa annyonnyodde

Nem1 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okkozesaamu empirivuma okulongoosa omutima n'okugumya ebinywa...