TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Teddy Bugingo awadde ensonga eyamutandisizza ekkanisa

Teddy Bugingo awadde ensonga eyamutandisizza ekkanisa

By peter ssaava

Added 5th January 2020

Teddy Bugingo awadde ensonga eyamutandisizza ekkanisa

Bug11 703x422

Teddy Naluswa Bugingo

TEDDY Naluswa Bugingo asazeewo atandike ekkanisa. Ekkanisa eno yagguddwaawo ku Lwomukaaga (eggulo) ku Hotel Triangle ku Buganda Road mu Kampala. Wano w’ajja okusumbiranga endiga buli Ssande. Bino we bijjidde nga bba Paasita Aloysius Bugingo yamusuulawo n’agenda ne Susan Makula Nantaba.

Omusasi waffe Peter Ssaava yasisinkanye Naluswa era emboozi yagenze bweti:

Teddy ng’onyirira nnyo ate ng’obadde n’ebizibu omwaka oguwedde?

Okuddamu: Mukama agabirira abatalina ayamba y’ansobozesezza era okuva lwe nnafuna ebizibu ampadde bye nneetaaga era ne bye sinnatuukako ajja kubimpa.

 Lwaki osazeewo okutandika ekkanisa?

 Kuno si kutandika kkanisa wabula Katonda yandaga nti nange nnina okusumba endiga ze omuli n’ezo ezaabula.

Toba ng’ozze kuvuganya taata w’abaana bo? 

Eno si bizinensi ng’abalala bwe bakola. Nzize mu buweereza bwa Katonda.

Ssente z’okupangisa ekifo onoozifuna otya? Ye abaffe osuubira ddi okugula ekifo w’onooteeka ekkanisa?

Katonda ye yampise era amanyi engeri gy’agenda okuyambamu Yeekaalu ye okutambuza emirimu. Ekiseera nga kituuse era Katonda ajja kutulaga ekifo we tunaateeka ekkanisa tuve mu bupangisa.

 Entalo eziri mu basumba onoozeewala otya?

Omusumba bw’atandika entalo kitegeeza nti si mutukuvu.

Baani abakutaddemu ssente?

Obuweereza sibutandise na ssente nnyingi era Katonda gwe nsinza nkimanyi bulungi nti buli kimu agenda kukitambuza bulungi. Wabula nkwataganye n’abasumba ba Miracle Centre Cathedral e Lubaga abannuhhamizza (Paasita Robert Kayanja ne mukyala we).

Waliwo abagamba nti olina okusooka okuyita mu masomero g’eddiini n’obangulwa, kino wakikoze?

 Ekyo nakikoze naye sigenda kukikulembeza kuba Katonda bwe yampita mpeereze teyampita kusinziira ku bitabo.

 Bagamba nti olina ensonyi, onoosobola okubuulira?

 Ensonyi nnyinza okuba nazo naye bwe kituuka ku kubuulira ekigambo ensonyi tezibaawo era abaali bandabyeko nga mbuulira banjulira.

Okukola ekkanisa kitegeeza okkirizza Bugingo okuwasa Makula?

 Nedda ssebo. Okutandika ekkanisa tekitegeeza nti baze mmukyaye oba mmulese akole by’ayagala. Bw’oba owaamawulire ne mukyala wo n’agayingira mwawukana?

Nze hhenze kubuulira njiri era tekikwatagana na ffamire.

Olunaku lulikya n’okyala mu kkanisa ya Bugingo?

 Sirina kkanisa gye sisobola kugendamu bwemba mpitiddwa mu butongole. Era ne bw’eba ya baze nsobola okugendayo ne mpeereza.

Oluvannyuma lw’okukola ekkanisa, tusuubire nti toddemu kukaabira Bugingo byetaago?

Baze alina okusigala ng’atuukiriza obuvunaanyizibwa bwe nga taata w’amaka wadde ng’obumu yabusuulawo.

 Oteeseteese otya okutabaganya abakyala abali mu mbeera gy’olimu?

Eno ensonga hhenda kugisimbako nnyo essira nga mbakubiriza okwagala babbaabwe n’abaana ate obutamala gawanika nga bafunye okusoomoozebwa. Balina okulemereko bafune bye baagala.

Ye embeera eri etya awaka?

Twakoma ku nsonga za ffiizi?

Kkooti ye Kajjansi yasala ebyayo n’eragira Bugingo obutasasulira baana bakulu ffiizi naye Katonda gwe nsinza munene era abaana bajja kusoma.

 Olinayo obubaka obwenjawulo bw’owa taata w’abaana bo?

Hahaha... mmwagaliza omwaka omulungi...

 Ate Makula?

Yeeteeke mu ngatto zange alabe bw’owulira ng’okoze mukazi munno ekyo ye kye yankola. Naye buli ky’okola mu maaso eyo okisasulira

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu...

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu ggiya

Set1 220x290

Museveni awabudde ku nteekateeka...

Museveni awabudde ku nteekateeka y’ettaka eneegaggawaza Bannayuganda

Tip2 220x290

Abbye abaana babiri n’abatwalira...

Abbye abaana babiri n’abatwalira muganzi we

Top2 220x290

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso...

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso e South Africa annyonnyodde

Nem1 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okkozesaamu empirivuma okulongoosa omutima n'okugumya ebinywa...