TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nazirikira mu nsiko Besigye n'amponya okufa-Museveni

Nazirikira mu nsiko Besigye n'amponya okufa-Museveni

By Muwanga Kakooza

Added 5th January 2020

Nazirikira mu nsiko Besigye n'amponya okufa-Museveni

Bes1 703x422

Pulezidenti Museveni ng'atambula okuva e Galamba

PULEZIDENTI Museveni agambye nti Col. Dr. Kiiza Besigye yataasa obulamu  bwe lwe yazirika nga balwana olutalo olwaleeta gavumenti eno mu buyinza.

Gen. Museveni agamba nti yali alinnya olusozi lw’e Bulaga mu  January wa 1985 oluvannyuma lw’abayekera be okuwamba Kabamba n’azirika olw’okutambuza ebigere ebbanga eddene kyokka Besigye n’amutaasa bwe yamuwa eddagala eryamuzza engulu n’addamu okutambula. Besigye yali musawo  wa Museveni mu kiseera ekyo.

 ‘’Bwe nnali nninya olusozi lw’e Bulaga (n’abayekera bange) nerabira amagezi ge nali nfunidde e Kalagwe – Tanzania nti bw’oba olinnya olusozi okwata omuggo. era olinnya owummulamu. Era ekyavaamu kwali kuzirika wabula Dr.( Kiiza) Besigye n’ampa eddagala eryanziza engulu’’ Gen. Museveni bwe yagambye.

Yagambye nti kino okubaawo abayekera be aba NRA abaali bakawamba enkambi y’e Kabamba .

Bino yabitegeezezza  mu kiwandiiko kye yafulumizza ekikwata ku kawonvu n’akagga k’olutalo lw’okulwanyisa Obote ne Gen. Tito Okello Lutwa be yawangula mu 1986.

Ekiwandiiko kinnyonnyola amakulu g’okutambuza ebigere (okulamaga) kwaliko ennaku zino n’abaali abalwanyi be abakulembeddwa Haji Ediriisa Sseddunga okuva e Garamba mu Wakiso okutuuka e Birembo mu disitulikiti y’e Kibale. 

 
 
 
 
 
 
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu...

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu ggiya

Set1 220x290

Museveni awabudde ku nteekateeka...

Museveni awabudde ku nteekateeka y’ettaka eneegaggawaza Bannayuganda

Tip2 220x290

Abbye abaana babiri n’abatwalira...

Abbye abaana babiri n’abatwalira muganzi we

Top2 220x290

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso...

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso e South Africa annyonnyodde

Nem1 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okkozesaamu empirivuma okulongoosa omutima n'okugumya ebinywa...