TOP

Ebyawalirizza Mbabazi okudda ewa Museveni

By Musasi wa Bukedde

Added 6th January 2020

AMAMA Mbabazi nga tannasalawo kudda wa Pulezidenti Museveni yasoose kwebuuza ku bantu abawerako omuli abali mu gavumenti naddala abaali mikwano gye, kw’ossa abooludda oluvuganya gavumenti be yakolaganako nabo ennyo wakati wa 2015 ne 2016.

Mbabazi 703x422

Mbabazi (ku kkono) ne Museveni.

Nga yeesigama ku bye yabadde ayitamu, endowooza ye n’aba ffamire ye ne be yeebuuzizzaako bye baamutegeezezza, yasazeewo nti kino ky’ekiseera ekituufu okudda ew’eyali mukamaawe okumala emyaka egisukka 30 mu biti eby’enjawulo nga ye Pulezidenti Museveni.

Kigambibwa nti mu kiseera kino Mbabazi 70, alinze kuweebwa mirimu mipya naddala eginaayamba okwongera okunyweza ekibiina kya NRM mu kalulu ka 2021 akaafuniddewo edda ebbugumu.

Wadde ebyabadde mu kafubo ke ne Museveni tebyayanjuddwa wabula ensonda zaategeezezza nti we yatuukidde okusisinkanira Pulezidenti ku ffaamu e Kisozi ku Lwokubiri era ne bamulambuza ne ffaamu, wabaddewo okwogeraganya okuzze kukolebwa okutuusa lwe kyasaliddwaawo basisinkane era ensi emanye nti Mbabazi azzeeyo “embuga” oluvannyuma lw’emyaka 4 nga takwatagana na Museveni.

Mbabazi we yagendedde ewa Museveni nga Pulezidenti yaakamala okukola enkyukakyuka n’aleeta Dr. Kenneth Omona ku kifo ky’omuwandiisi we ow’ekyama.

Omona abadde mukulu nnyo mu byobufuzi bya Mbabazi ne Museveni era olumu Pulezidenti yeebaza Omona nti yamuyamba nnyo okumanya Mbabazi bwe yali atabuddetabudde ebintu ku ggwaandiisizo lya NRM era ng’eyo Omona naye gye yali akola. Omona yazze mu kifo kya Molly Kamukama era ofiisi baakagimukwasa.

Museveni abadde anenya Mbabazi okugootaanya emisingi gy’ekibiina era bwe yali e Katwe ng’asisinkanye aba Ghetto mu October w’omwaka oguwedde, yagamba Catherine Kusasira nti amuwadde omulimu okusambula olusuku (olwa NRM) olwali luzise mu biseera Mbabazi we yabeerera Ssaabawandiisi.

EBYAWALIRIZZA MBABAZI OKUDDA EWA MUSEVENI

Ensonda zaategeezezza nti abantu kumpi bonna abaali abawaguse mu NRM ne bagenda ne Mbabazi, babadde baabakolamu omulimu ne babazza mu “kintu”, olwo Mbabazi ne bamuleka mu bbanga.

Mu bantu abo mulimu abavubuka abaali bakulemberwa Adam Buyinza Luzindana n’abalala aba Poor Youth nga bonna baagenda bamatizibwa mpolampola okudda eka, era bangi babadde tebakyakwatagana na Mbabazi.

Kigambibwa nti tebaakoma ku kudda mu NRM wabula baasigala baperereza Mbabazi naye addeyo era abamu ne bamuteerako ddala akazito nga bamulaga ebizibu bye yabasuulamu bwe yabamatiza okumwegattako ne bava ku Museveni.

Abasinga ku bano baabazzaayo wakati wa 2016 ne 2017 mu kusika omuguwa kwa ‘Togikwatako.’

Waliwo n’abali mu gavumenti kyokka nga babadde babayisaamu emimwa nti balinnya ewa Museveni n’ewa Mbabazi abagambibwa nti nabo baakoze kinene okumatiza Mbabazi okudda ewa Museveni bave ku ggwagi n’olujeejeemo lwe babadde babateekako nti, “Abo mubalabira awo, naye ba Mbabazi” Kigambibwa nti bano baafunye obuweerero olw’ensisinkano eyo.

Nnampala wa NRM Ruth Nankabirwa yagambye nti Mbabazi okudda ewa Pulezidenti tekibeewuunyisa kubanga ne lwe yeesimbawo ku Bwapulezidenti mu 2016, teyategeezaako ggwanga n’omulundi n’ogumu nti avudde mu NRM wabula yalaganga bulazi ebitatambula bulungi mu kibiina by’ayagala okutereeza bagende mu maaso, nti era we yeesigamya n’enjogera ye eya “Go Forward” mwe yanoonyeza akalulu.

Nankabirwa yagambye nti guno mukisa eri NRM okwongera okuzza abo bonna abazze bawaguka ku kibiina.

ABA FDC BASEKERA MU KIKONDE

Aba FDC nabo okuddayo kwa Mbabazi baakufunyeemu kubanga baakikozesezza okujjukiza abantu nti omuntu eyeesigika ye Dr. Kizza Besigye eyagaana okulekera Mbabazi ng’aboomukago gwa TDA bwe baali baagala era n’akwata bendera ya FDC n’amalira mu kifo kyakubiri. Baagunjizzaawo n’enjogera nti, “Weesige Besigye”.

Bajjukizza n’ebigambo ebyayogerwa munnabyabufuzi wa DP eyali awagira Mbabazi bwe yali annyonnyola lwaki basazeewo okugenda ne Mbabazi ne baleka Besigye, nti era n’agamba nti, “Bw’olema okuvuba empuuta, ate tokaayanira Mukene.”

“Kati oyo singa twamwesiga ne tusuula Dr. Besigye ffenna ne tuwagira Amama Mbabazi, singa tuli ludda wa?” Harold Kaija omumyuka wa Ssaabawandiisi wa FDC bwe yagambye.

Kaija yawunzise yeewuunya engeri bannabyabufuzi gye bamenya emitima gya Bannayuganda naddala abali ku ludda oluvuganya gavumenti nga babawagira ate ne bakeera ku makya ne bawulira nti bazzeeyo ewa Pulezidenti Museveni.

DP y’eyasinga okuwagira Mbabazi mu 2016, kyokka omwogezi w’ekibiina Kenneth Paul Kakande yagambye nti Mbabazi babadde baamugoba dda. “Twamusikiza omuvubuka mbulakalevu Robert Kyagulanyi era bwe guba mupiira twafulumya omuteebi atateeba mu kisaawe ne tuyingiza ‘Messi’ waffe alindiridde okutukubira obutimba,” Kakande bwe yagambye.

Abamu bagamba nti ekya Mbabazi okusigala mu bbanga ng’abooludda oluvuganya gavumenti balinga abamuvuddemu ate nga n’aba NRM be yali aggyeeyo, abamu bazzeeyo; ky’ekimu ku byasinze okumuwaliriza okudda ewa Pulezidenti Museveni. Kigambibwa nti obululu obutono ennyo Mbabazi bwe yafuna, bwamumalamu nnyo amaanyi era naye n’asigala nga yeewuunya abooludda oluvuganya gavumenti.

Waliwo n’abagamba nti Mbabazi abadde ayita mu kusoomozebwa mu bulamu obwa bulijjo nga yeegeraageranya n’ekiseera we yabeerera Katikkiro wa Uganda era Ssaabawandiisi wa NRM eyalina amaanyi amangi. Kigambibwa nti n’ebyenfuna bye ebimu nabyo byagootaanamu nga tebikyatambula nga bwe byali bitambula we yabeerera mu gavumenti.

ABADDE KU BUZIBU- MAO

Omwaka oguwedde Pulezidenti wa DP Norbert Mao baamubuuza ku bikwata ku Mbabazi eyali asirise ennyo ekiseera ekyo era n’ayanukula nti; omusajja mumusaasire, gavumenti yamuteekako akazito, ebintu bye bingi byagootaana era by’ayitamu ssi byangu.

Abamu ku bakulembeze ba NRM mu disitulikiti ez’enjawulo baasanyukidde Pulezidenti Museveni era nga mu kiseera kye kimu ye Ssentebe wa NRM okutunula ewala n’asembeza Mbabazi ate mu kiseera ng’ekibiina kikolerera kwegatta okuddamu okuwangula Obwapulezidenti bw’eggwanga.

Omwogezi wa NRM ku lukiiko olufuga Disitulikiti y’e Wakiso Muwanga Lutaaya yagambye nti: Amama Mbabazi munnabyabufuzi wa maanyi nnyo. Ekiseera we yabeerera Ssaabawandiisi wa NRM ng’enkiiko z’ekibiina mu ggwanga lyonna zikola, nga abakulembeze 30 ku buli kyalo gye bali era ekibiina nga kya maanyi okusinga kati bwe kiri,” Lutaaya bwe yagambye.

Yasanyuse nti okugenda kwa Amama Mbabazi kubadde kusannyalaza ekibiina ng’abakulembeze ab’enjawulo buli omu ali ku lulwe. Ssentebe w’ekibiina okumutuukako si kyangu ate nga n’abakulembeze abalala abandiyunze bannakibiina ku Ssentebe, nabo bakola byabwe.

Muwanga yawunzise nti kati nga Mbabazi bw’akomyewo, bannabyabufuzi ku ludda oluvuganya Gavumenti nti beekaabire. “NRM egenda kuddayo waggulu era akalulu tukawangulire waggulu. Ekifo kya Ssaabawandiisi wa NRM Mbabazi kye yalimu, kye kyaweebwa Justine Kasule Lumumba.

Ssentebe wa NRM mu Disitulikiti y’e Mukono Hajj Twahiri Ssebaggala yagambye nti eno y’ensonga lwaki baagala ssentebe w’ekibiina kyabwe kubanga alengera wala. “Tetumanyi byavuddemu naye nsuubira byonna birungi kubanga Amama Mbabazi yali mukulembeze mulungi era y’ensonga lwaki Pulezidenti yalengedde wala n’amuzza. Kino kiraga maanyi ga NRM kubanga oludda oluvuganya lumulemeddwa era era kati bagenda kumulaba amaanyi ge.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono