TOP

Bugingo avuddeyo ku kkanisa ya Teddy

By peter ssaava

Added 7th January 2020

PAASITA Aloysius Bugingo yasinzidde mu kusaba ku kkanisa ye eya House of Prayer International Ministries e Makerere-Kikoni n’agugumbula abatandise okumwepimamu nga balowooza nti by’akola babisobola.

Teddy1 703x422

Teddy Naluswa Bugingo lwe yatongoza ekkanisa ye.

Bya PETER SSAAVA

PAASITA Aloysius Bugingo yasinzidde mu kusaba ku kkanisa ye eya House of Prayer International Ministries e Makerere-Kikoni n’agugumbula abatandise okumwepimamu nga balowooza nti by’akola babisobola.

“Nze nneewuunya abatandise okunkoppa nga balowooza nti bye nkola babisobola! Nnafukibwako amafuta okuviira ddala ewa Katonda; bye nkola tebayinza na kubituuka mu makkati. Akitegedde gamba nti Amiina.” Bugingo bwe yayogedde ng’ali ku katuuti mu kusaba kw’oku Ssande.

 ugingo Bugingo

 

Bugingo wadde nga teyayogedde mu lwatu nti agamba mukazi we ow’empeta, Teddy wabula gye yawunzikidde ng’abagoberezi beekuba obwama nga boogera erinnya lya Teddy eyatongozza ekkanisa ye gye yatuumye Word of Salvation Ministries International ku Lwomukaaga ku Hotel Triangle mu Kampala.

Abamu ku baabadde mu kusaba baategeezezza nti ebigambo bya Bugingo bye yakozesezza byalaze nti afunyeemu okutya olwa mukyala we okutandika ekkanisa ate n’amutwalako abamu ku bakadde b’ekkanisa.

Abamu ku bakadde b’ekkanisa abaavudde ewa Bugingo ne beegatta ku kkanisa ya Teddy kuliko Rosemary Komugisha, Susan Nabukenya, Charity Agaba, Adams Kakuba ne Charles Kyomu.

Teddy abadde mubuulizi wa njiri ng’akyali ne Bugingo era bwe yabadde aggulawo ekkanisa yagambye nti eby’enjiri teyaakabiyiga buyizi wabula abimanyi n’okusinga abamu bwe balowooza nti babitegeera nnyo ate ng’ebikolwa byabwe bijjudde ekko.

“Nze ssiri nga basumba balala abeefuula abatukuvu mu maaso g’endiga naye ng’ebikolwa byabwe si bya butuukirivu era oli avaayo n’agamba nti sirina kye mmanyi mu kubuulira alinde bulinzi kuba ennyumba ya Mukama twagiggulawo.” Teddy bwe yayongeddeko.

Teddy bwe yatuukiriddwa ku ssimu eggulo yategeezezza nti abagoberezi bangi ababadde ku kkanisa ya bba Bugingo ne bamwegattako wabula ng’abamu babadde bakyatya okuvaayo mu lwatu okwogera ebyabaggyeeyo kyokka n’agamba nti bwe batandika okusaba ku ssande, endiga zino zaakubeeyungako.

 

Abanene 5 bavudde ewa Bugingo ne beegatta ku Teddy

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’