TOP

Eyateeze muliraanwa n’amutema bamusse

By Paddy Bukenya

Added 7th January 2020

OMUSAJJA ateeze muliraanwa n’ejjambiya emisana ttuku okumutta kyokka abatuuze ne bamukwata ne bamutemaatema obulere n’afiirawo. Ggwe yateeze asigaddeko kikuba mukono.

Sserubowa1 703x422

Abasawo nga bakola ku Sserubowa.

Bya PADDY BUKENYA

OMUSAJJA ateeze muliraanwa n’ejjambiya emisana ttuku okumutta kyokka abatuuze ne bamukwata ne bamutemaatema obulere n’afiirawo. Ggwe yateeze asigaddeko kikuba mukono.
Robert Kayonga 38, ow’e Kabuye mu ggombolola y’e Budde mu disitulikiti y’e Butambala ye yateeze muliraanwa we Vincent Sserubowa 58, n’amutemaatema
ng’ayagala okumutta.

Kayonga okutema Sserubowa yasoose kumwekweka mu kasiko okumpi n’ekkubo ly’abadde ayitamu okudda ewuwe ng’ava okugula endagala z’asibamu amayirungi
okugatwala e Kampala olwo n’amuva emabega n’amutema ejjambiya ku mutwe.

 

Bw’atalantuse n’agwa n’amwongera endala ku bulago olwo n’akuba enduulu esombodde abatuuze.

Kayonga abadde agezaako okudduka n’agwa olwo Sserubowa w’amusanze n’amuggyako ejjambiya n’amutemaatema n’amutta.

Abatuuze batemezza ku poliisi y’e Kyabadaaza kyokka egenze okutuuka nga Kayonga mufu kyokka nga ne Sserubowa ali mu mbeera mbi oluvannyuma lw’okuvaamu
omusaayi omungi ku mutwe n’obulago.

Poliisi y’e Kibibi ng’ekulembeddwaamu akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Butambala, Zakaliya Mbabazi etuuse mu kifo kino n’etwala Sserubowa mu 
ddwaaliro e Gombe okufuna obujjanjabi.

N’omulambo gwa Kayonga gwatwaliddwa mu ddwaaliro e Gombe.

Poliisi esanze enjaga mu maka g’omugenzi Kayonga n’ejjambiya eriko omusaayi n’ebitwala ku poliisi bigiyambeko mu kunoonyereza ku bivuddeko ettemu lino.

 


Abatuuze balumirizza omugenzi Kayonga nti abadde mutemu nga yasooka kutta eyali ssentebe w’ekyalo kino, Bosco Male nadduka ku kitundu nga kati abadde yaakakomawo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu...

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu ggiya

Set1 220x290

Museveni awabudde ku nteekateeka...

Museveni awabudde ku nteekateeka y’ettaka eneegaggawaza Bannayuganda

Tip2 220x290

Abbye abaana babiri n’abatwalira...

Abbye abaana babiri n’abatwalira muganzi we

Top2 220x290

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso...

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso e South Africa annyonnyodde

Nem1 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okkozesaamu empirivuma okulongoosa omutima n'okugumya ebinywa...