TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Alumirizza muwala wa Tamale Mirundi okumubbako bba

Alumirizza muwala wa Tamale Mirundi okumubbako bba

By Musasi wa Bukedde

Added 7th January 2020

NNAALONGO Moureen Nanteza yeesowoddeyo n’ajjukiza muwala wa Tamale Mirundi, Teddy Nantongo nti omusajja gwe yafumbiddwa Benard Lutaaya Musoke ye Ssaalongo we gw’alinamu abalongo abaatuula S4.

Nantongo1 703x422

Lutaaya ng’aliisa Nantongo ku mbaga yaabwe gye buvuddeko.

Bya VIVIAN NAMAGEMBE

NNAALONGO Moureen Nanteza yeesowoddeyo n’ajjukiza muwala wa Tamale Mirundi, Teddy Nantongo nti omusajja gwe yafumbiddwa Benard Lutaaya Musoke ye Ssaalongo we gw’alinamu abalongo abaatuula S4.

Nnaalongo Nanteza ow’e Bulenga - Gogonya yaddukidde ewa Sarah Kalule ssentebe wa LCI Bulenga B n’amuyitiramu ku nsonga ze nti bba yamwekangidde mu mawulire ng’alaba akyusizza amannya yeetuumye Benard Lutaaya Musoke so ng’abadde naye ebbanga ng’akimanyi nti ye Benard Kajubi.

Ekyamwewuunyisizza kwe kulaba ng’awasa Nantongo so nga ye ebbanga ly’amaze ng’amuzaddemu abaana, yamulekera obuvunaanyizibwa.

 

Omwana omukulu Majorine Naamala yakoma mu S6 mu 2018 n’ateeyongerayo nga Kajubi agambye nti takyalina ssente zimuweerera.

Teyakoma kw’oyo n’abalongo okuli Simon Peter Wasswa ne Spier Kato baatudde S4 omwaka oguwedde kyokka nnyaabwe akyalowooza w’anaggya ssente ezibongerayo tamanyi we zinaava kyokka ne Disan Kajubi 8 owa P3 takakasa oba anaasobola okweyongerayo.

Nanteza yategeezezza BukeddeOnline nti baafumbiriganwa ne Lutaaya mu 1996 kyokka Ssaalongo yatabuka n’abalekawo mu 2011 nga Nnaalongo ali lubuto lwa myezi mukaaga.

Ayagala bba asooke atereeze amaka amakadde, aweerere abaana alyoke yeeyongereyo gy’ayagala okubeera n’omugole.

Nantongo yayanjudde Lutaaya mu maka ga kitaawe Tamale Mirundi e Zzana nga December 18, 2019.

LUTAAYA ANNYONNYODDE

Mmaze ebbanga nga njawukanye n’omukyala oyo olw’ensonga zange kubanga nnalemererwa okubeera n’omuntu nga tan­tegeera era ng’ayagala nnyo okweraguza mu basawo.

Omuwala yafumbirwa, Wasswa akola ate Kato yaakatuula S4.

Abaana nnabaleka wa jjaj­jaabwe e Zzana naye yagenda n’abapakulayo so nga wali baali bafuna buli kimu. Omukyala oyo alina ebigambo bingi nga n’olumu yagamba nti nnabba abaana abalongo ne mbatunda nfunemu ssente.

Nnalina abaana bange abakulu abaamaliriza yunivasite naye omukyala oyo yaboogerera nga bwe batagenda kubeera baana ne ntoba bo ne mbaweerera ne ba­maliriza yunivasite. Naye omuntu ayinza okwebuuza nti ebbanga eryo lyonna lwaki avaayo kati ng’amaze kulaba mukolo?

Nsaba aleke kubalimba nti abaana sibalabirira kubanga buli luwummula babadde babeera wa jjajjaabwe.

Nze nnasembayo okumuwa ssente mu 2016 ng’agamba nti avudde ku mmotoka n’agwa ng’ayagala bujjanjabi kyokka olu­vannyuma ne nkizuula nga yalina akabiina akamubanja ng’ayagala kuzisasula.

Nze ndi musajja Mukatoliki, bye nkola saagala kavuyo, ssente zange nzinoonya, nkolera Mom­basa era abaana ye yabaggya ewa jjajjaabwe gye nnali mbalabiririra n’okubawa obuyambi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana