TOP

Bajjukidde Ssaabalabirizi Nkoyoyo

By Lawrence Kitatta

Added 7th January 2020

SSAABALABIRIZI omulonde Dr. Samuel Stephen Kazimba agambye nti waakwambala egganduula ly’omugenzi Dr. Livingstone Mpalanyi Nkoyoyo bw’anaaba atuuzibwa ku bwasaabalabirizi mu March w’omwaka guno.

Nkoyooyo1 703x422

Bp. Kazimba n’omukyala nga baganzika ekimuli ku malaalo ga Nkoyoyo. Owookubiri ku kkono emabega ye nnamwandu Ruth Nkoyoyo. Wakati ataddeko entalabuusi ye Mulangira Nakibinge.

Bya LAWRENCE KITATTA

SSAABALABIRIZI omulonde Dr. Samuel Stephen Kazimba agambye nti waakwambala egganduula ly’omugenzi Dr. Livingstone Mpalanyi Nkoyoyo bw’anaaba atuuzibwa ku bwasaabalabirizi mu March w’omwaka guno.

Bino yabyogedde mu kusaba kw’okujjukira Ssaabalabirizi eyamuwummula Dr Nkoyoyo okwategekeddwa ku kkanisa y’ekiggwa ky’abajulizi Abakrisitaayo e Namugongo ku Ssande mu kusaba okwetabiddwaako abeebitiibwa n’abagundiivu b’omu Kampala.

“Gganduula y’omugenzi gye ngenda okwambala nga ntuuzibwa ku bwa Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda. Maama Ruth Nkoyoyo yampita n’aginkwasa kyokka waba waakayita emyezi mukaaga ne nnondebwa ku Bwassaabalabirizi. Nasalawo okugitereka ndigiggyayo nga ngenda kutuuzibwa ku bwa Ssaabalabirizi kuba eriko omukisa.”

Yagambye nti omuntu bw’akola ebirungi Mukama amuwa omukisa na buli kintu ky’akwatako kiba n’omukisa. Ne bw’aba afudde omukisa gwe gusigala kw’ebyo byabadde akozesa era n’abo abakikwatako bagabana ku mukisa ogwo ate ne gubatambulirako. Kino Bp. Nkoyoyo yakirina nga kirabo. Bp. Kazimba yagambye nti; “mu bulamu, bw’oba omuntu omulungi n’ofuna emikwano emirungi gibeerawo ne mu biseera ng’ofudde. Y’ensonga lwaki tukungaanye wano mu bungi okujjukira Nkoyoyo.”

Yagambye nti ensonga lwaki baakungaanye ziri satu, okujjukira ebirungi omugenzi bye yakola, okunyiga aba famire mu nnaku n’okubagumya n’okutuukiriza ebyo omugenzi bye yaleka nga tannafa.

Yennyamidde olw’abantu be yayise abaluvu abeenyigidde mu kibbattaka kyokka nga n’abamu bampi bazibu nga we bagenda okuziikibwa tewaweza yadde ffuuti ettaano, bw’atyo n’abasaba okweddako.

Justice Ogoola ye yabadde omugenyi ow’enjawulo ku mukolo guno era nga yasomye ebyafaayo by’omugenzi mwe yalagidde nti kiwa essanyu kuba buli pulojekiti omugenzi gye yawomamu omutwe ekoleddwa era n’eggwa bulungi.

Ku zino kuliko amaka g’obwassaabalabirizi e Namirembe, ofiisi z’obwassaabalabirizi e Namirembe, Chuch House ku Kampala Road n’okuba nti ye yakulemberamu omulimu gw’okuzimba Lutikko e Nakasero esuubirwa okuggyibwako engalo mu March ebiraga nti Nkoyoyo yali wa njawulo.

Okusaba kwetabiddwaako n’Omulangira Kasimu Nakibinge era nga naye yabuuzizza ku bantu abaabadde ku mukolo guno era n’abeebaza okwagala ffamire y’omugenzi Nkoyoyo.

Bamulekwa nga bakulembeddwaamu omusika Isaac Nkoyoyo basiimye abantu bonna abababeereddewo mu buli mbeera okuli Gen. Katumba Wamala kati minisita w’ebyenguudo, Emmanuel Katongole, Kaddu Kiberu, Lt. Col. Robert Sekidde owa Seroma n’abeekibiina ky’Endowooza.

Gyaweze emyaka ebiri okuva omugenzi Dr. Nkoyoyo lwe yafa.

Okusaba kuno kwetabiddwaako Bp. Jackson Matovu, Bp. Danstan Bukenya, Ssaabadinkoni Membe Kijambu ow’e Luzira atwala ne Namugongo, Kaddu Kiberu, Rev. Can. Sennyonyi n’omukyala Ruth Sennyonyi, Mukyala Esther Nsibambi, Julius Mutebi mmeeya w’e Kira n’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...