TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Director agambibwa okusobya ku bayizi akoze katemba mu kkooti

Director agambibwa okusobya ku bayizi akoze katemba mu kkooti

By Paddy Bukenya

Added 7th January 2020

Director agambibwa okusobya ku bayizi akoze katemba mu kkooti

Set11 703x422

DAYIREKITA w'essomero agambibwa okusobya ku bayizi be akoze katemba mu
kooti wamu n'aboluganda nga bekalakaasa mbu enosnga ezimusibya z'abyabufuzi.


Asadu Wamala dayirekita w’essomero lya Wamala Mixed Secondary School e Mpambire agambibwa okusobya ku bayizi be ssomero lye ebatanetuuka ne metulooni we  Harimah Nansubuga olutusiddwa ku kooti eMpigi embeera ne kyankalana nga Wamala alumiriza abantu bavuganya nabo mu bizinensi yamasomero okubeera mu kobaane ly'okumusibisa.

Wamala abadde asibiddwa empingu ku mikono nenjegere ku Magulu bakira alekaanira waggulu nti emisango egimuvunanibwa girimu eby'obufuzi ne byemirimu mu binzinensi zamasomero agamuvuganya.

Kino kisaanudde aboluganda lwa Wamala n’abakozibe ababadde ku kooti ne batandika okuleekanira waggulu nga bakolimira abantu abavunaana omuntu waabwe nokutisatiisa abamawulire be bagamba nti balemedde ku muntu waabwe nga basasulwa oludda oluvunaana Wamala n'ekigendererwa kyokumutunza eby'obugagga bye.

Abasirikale ba kooti bagezezzaako okukakkanya abantu ba Wamala ne bagaana nga balekaanira waggulu ekibawalirizza okubagoba ne babafulumya kooti okuzza embeera mu nteeko.

 



Wamala ne metulooni we Nansubuga basimbiddwa mu maaso g'omulamuzi wa kooti ento Maurine Mukoye nabasomera emisango oluvanyuma nabasindika ku alimanda okutuusa nga 21 January.

Wamala avunanibwa emisango gyokusobya ku bayizibe nokubatigatiga gyeyazza ku mu mwezi gwa October ne November w’omwaka oguwedde gattako metulooni w’essomero lye Harimah Nansubuga avunanibwa ogwokuyambako Wamala okusobya ku bayizi be..... 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...