TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba Katwe West bakiikidde Kcca ensingo lwa kubaggalira oluguudo

Aba Katwe West bakiikidde Kcca ensingo lwa kubaggalira oluguudo

By Musasi wa Bukedde

Added 7th January 2020

Aba Katwe West bakiikidde Kcca ensingo lwa kubaggalira oluguudo

Yet2 703x422

ABATUUZE  be Katwe mu Zooni ya West B bakiikidde ekitongole kya KCCA  ensingo olw’okuggala oluguudo bbo lwe bagambye nti lubadde lukozesebwa abantu bangi naddala abakozi ekintu ekibadde kyongedde n'enkulakulana kuba emirimo kibadde kitambula.

Oluguudo olw’ogerwako luyitibwa Zzizinga nga lusangibwa mu Zooni ya West B okumpi n’oluguudo lwa Kampala Express oluzimbibwa ku Queens way,okusinziira ku Kansala w’ekitundu kino Deo Kasana oluguudo luno lwa KCCA era yyo yeyasaba abatuuze okugiwa ettaka ekintu kyebakkiriza kyokka mukiseera kino yyo kennyini yesazeewo eruggale,ono agamba luno luyisa abantu okuva mu bitunu  bya Katwe,Makindye,Nsambya n’ewalala era lubadde lukola kinene ku kukendeeza omugotteko songa n’abatuuze abasangibwa mu kitundu lubadde lubayamba kinene mu kutumbula bizinensi zaabwe.

Kasana agamba bano okukola kino bazinira ku ntoli z’abakulembeze ba takisi mu Usafi abali mu ntalo n’abo bebaagla batandike okuttikira eyo  nebalabira nti ekifo kino kibadde tekikozesebwa ba Takisi bokka era okuggala oluguudo luno bakosezza abatuuze abatamanyi na ntalo zaabwe,ono asabye bekikwatako okubayamba oluguudo luno luddemu luggulwe.

Wabula Ali Lukyamuzi nga mukulembeze mu Usafi agamba baludde ebbanga nga basaba emmotoka ezikwata ku luguudo lwa Ntebbe okudda mu paaka ya Usafi kyokka nga bereme era baabadde basazeewo okwegugunga kyokka KCCA nebasuubiza okukola ku mbeera eno era basanyufu nnyo okulaba nga basobodde okutuukiriza.

Wabula ono asabye KCCA obutakoma kukugobawo bugobi mmotoka zino wabula ekuumire ddala ekifo okulaba nga bano tebaddamu kukolerawo kuba ssinga kiddamu okubeerawo bano baakugenda mu maaso n’obwegugungo bwabwe.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo

Sam13 220x290

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e...

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e Mawogola Ambulance n'ebimotoka by'amazzi mu kaweefube w'okutangira COVID-19

Rob12 220x290

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo...

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo embeera y'okulwanyisa COVID-19

Dav1 220x290

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa...

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa ekirwadde kya Coronavirus

Thequeeneliabethiienglandcrowntodaynewslatestroyalfamily1180775 220x290

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu...

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu