TOP

Bobi oluvudde mu kkomera n’agenda e Lira

By Lawrence Kitatta

Added 8th January 2020

BOBI Wine azzeemu okukuba enkiiko ez’okwebuuza ku balonzi n’alaalika nti leero ali mu kibuga ky’e Lira gy’ategese okusisinkanira abantu.

Bobi1 703x422

Bobi Wine

Bya LAWRENCE KITATTA ne BENJAMIN SSEBAGGALA
 
BOBI Wine azzeemu okukuba enkiiko ez’okwebuuza ku balonzi n’alaalika nti leero ali mu kibuga ky’e Lira gy’ategese okusisinkanira abantu.
 
Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) akulira ekisinde kya People Power yagambye nti tewali agenda kumuziyiza kukuba nkiiko zino kubanga ddembe lye erimuweebwa Ssemateeka nga Munnayuganda.
 
Yagambye nti buli kakwakkulizo akaamuteekebwako okukuba enkiiko zino yakatuukiriza kyokka n’anenya poliisi nti by’ekola emenya mateeka.
 sewakiryanga owa ganda ational  orum ngannyonnyola Ssewakiryanga owa Uganda National NGO Forum ng’annyonnyola.

 

 
ENTEEKATEEKA NGA BWE ZAABADDE
Bobi Wine yabadde ategese ng’enkiiko agenda kuzitandikira Gayaza mu Kyaddondo East gy’akiikirira mu Palamenti wabula poliisi yayimirizza olukiiko olwo era ye n’ababaka abalala 2 n’abakulembeze ba People Power abasukka mu 10 ne bakwatibwa era olukuhhaana ne lusazibwamu.
 
Eggulo yabadde ategese kubeera Gulu wabula nakyo tekyasobose. Poliisi ng’eyita mu mwogezi waayo, Fred Enanga yategeezezza nti ebifo Bobi Wine bye yabadde afunye bibangirizi ate nga bwe yali akkirizibwa okukuba enkiiko zino, yalagirwa kuzitegekera mu bizimbe.
 
Bobi Wine eggulo yasuze amalirizza entegeka okugenda mu bukiikakkono bwa Uganda okwetaba mu lukiiko olutegekeddwa olwaleero e Lira ku Grand Pacific Hotel ku ssaawa 4:00 ez’oku makya.
 
Yagambye nti yeetaaga okwogera ne Bannayuganda mu bitundu by’eggwanga byonna abawe endowooza ye ku ky’okuvuganya ku bwapulezidenti.
 
ABAAKWATIDDWA BOOGEDDE
Abaakwatiddwa ku Mmande okuli n’omwogezi wa People Power Joel Ssenyonyi, bwatuuse kuziba nga bakyali mu buduukulu bwa poliisi e Kasangati, Naggalama n’ebifo ebirala.
 
Baawakanyizza ebiragiro bya poliisi bye yabataddeko omuli okuba n’embwa eziyamba mu kunoonya bbomu, kaabuyonjo ezitambuzibwa mu bifo eby’enjawulo, obutagootaanya ntambula y’ebidduka, n’ebifo gye balina okusisinkana abantu ne bagamba nti egyo mirimu gya poliisi si gya bannabyabufuzi.
 
Medard Lubega Ssegona yagambye nti poliisi yeerabidde omulimu gwayo kuba y’erina okubayita ng’abakulembeze ba People Power n’ebalambika ku ngeri gye bayinza okukwatamu ebyokwerinda ng’agamba nti baabawandiikira amabaluwa.
 

 BALUMIRIZZA POLIISI OKULUMBA OFIISI ZAABWE

Bobi Wine yagambye nti ekiro ekyakeesezza eggulo, poliisi yalumbye ekitebe kyabwe e Kamwokya n’ebaako ebintu by’etwala omuli empapula ne boodabooda ezibadde zisuzibwa mu kifo kino. Yagambye nti mu kiseera kino ziri ku poliisi ya Kira Road.
 
Ab’omukago ogugatta ebibiina by’obwannakyewa ekya Uganda National NGO Forum baagambye nti etteeka poliisi mw’eyita okuziyiza enkiiko z’omubaka Kyagulanyi ez’okwebuuza ku bannayuganda erya Public Oder Management act kkyamu.
 
Baabadde bakulembeddwa ssentebe w’omukago guno Richard Ssewakiryanga eyagambye nti etteeka lino likontana ne Ssemateeka wa Uganda awa Bannayuganda eddembe ery’okwogera n’okutegeka enkuhhaana.
 
EBIRI MU TTEEKA POLIISI LY’EKOZESA KU BOBI WINE
Etteeka lino likolera wamu n’ennyingo 29(1) ne 43 eza Ssemateeka w’eggwanga nga zirambika engeri abantu gye balina okukuhhaanamu.
 
Lirambika obuvunaanyizibwa bwa poliisi mu mitendera gyonna ng’olukung’aana terunnaba kubeerawo, nga lugenda mu maaso, ne bwe luba nga luwedde.
 
Etteeka liragira nti ategeka olukuhhaana alina okutegeeza poliisi ng’awandiikira omuduumizi waakiri nga wabulayo ennaku 15 lubeerewo.
 
Okusinziira ku nnyingo 8 (1), ssinga omuntu abeera tatuukirizza bisaanyizo ebyo, poliisi eba erina okuyimiriza olukuhhaana nga kino kikolebwa omuserikale ku ddaala erya Inspector n’okudda waggulu.
 
Munnamateeka Erias Luyimbazi Nalukoola yategeezezza BukeddeOnline nti etteeka teriragira muntu kusaba poliisi lukusa okukuba olukungaana wabula limulagira okutegeeza ku poliisi esobole okuwa obukuumi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...