TOP

Ababbi balaze Poliisi bwe basse owa Bodaboda

By SHAMIM NABUNNYA

Added 8th January 2020

EKITONGOLE kya Poliisi ekya Flying Squad kikutte lubona abavubuka babiri nga batunda boodabooda gye bagambibwa okubba ku nnannyini yo gwe baasoose okukuba ennyondo ku mutwe ne bamuleka ng’ataawa.

Kabadiya1 703x422

Okello ( ku ddyo) ng’agereza ku Onyango engeri gye yakuttemu owabooda akabadiya n’amutuga.

Bya SHAMIM NABUNYA

EKITONGOLE kya Poliisi ekya Flying Squad kikutte lubona abavubuka babiri 
nga batunda boodabooda gye bagambibwa okubba ku nnannyini yo gwe 
baasoose okukuba ennyondo ku mutwe ne bamuleka ng’ataawa.

James Onyango 29, omutuuze w’e Buwaate ne Moses Okello 31, omutuuze 
w’e Katanga – Buwaate baakwatiddwa  ku Mmande nga bakutula ddiiru e Katwe
ku Muganzirwazza ey’okutunda pikipiki eno nnamba UER 831W gye babbye e 
Kasangati mu Wakiso ku Ssande ekiro.

Baalaze abaserikale ba Flying Squad  engeri gye baakuttemu owa boodabooda
akabaddiya ne bamukuba ennyondo ku mutwe ne bakuuliita ne pikipiki.

Baategeezezza abaserikale nti, nnannyini pikipiki baamupangisizza kuva Kasangati abatwale e Kira, wabula baabadde banaatera okutuuka mu katawuni k’e Kira, Moses Okello n’amugwa mu bulago nga pikipiki etambula n’amukuba ku ttaka.

Bwe baamaze okumutuga ng’amaanyi gamuwedde, ne bamukuba ennyondo ku mutwe ne bamuleka awo ng’ataawa ne batwala pikipiki era tebamanyi oba yafudde oba akyaliyo mulamu.

Abasuubuzi abaakoowa ababbi mu kitundu kyabwe olwalabye abasajja be beekengera nga batunda pikipiki kwe kukubira aba Flying Squad ne babazingako ne babatwala ku poliisi e Katwe.

Engeri gye babbyemu pikipiki ku musajja ono n’enyumya gye baabadde banyumyamu, efaanana engeri akabinja ka Young Mulo gye kaali kabbamu pikipiki mu bitundu bya Kampala n’emiriraano.

Lawrence Ayesiga aduumira Flying Squad e Katwe yagambye nti bagenda kukwatagana ne poliisi y’e Kasangati ne Kira basobole okunoonya nnannyini
pikipiki, n’agamba nti embeera gye banaamusangamu y’ejja okubawa omusango omutuufu gwe bajja okubaggulako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....