TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Dayirekita ali ku gw’okusobya ku bayizi akoze katemba mu kkooti

Dayirekita ali ku gw’okusobya ku bayizi akoze katemba mu kkooti

By Paddy Bukenya

Added 8th January 2020

DAYIREKITA w’essomero agambibwa okusobya ku bayizi be akoze katemba mu kkooti n’abenganda ze nga beekalakaasa nti ensonga ezimusibya za byabufuzi ne bizinensi y’essomero.

Head 703x422

Wamala gwe balumiriza okusobya ku bayizi nga akola olutalo ku kkooti.

Bya PADDY BUKENYA
 
DAYIREKITA w’essomero agambibwa okusobya ku bayizi be akoze katemba mu kkooti n’abenganda ze nga beekalakaasa nti ensonga ezimusibya za byabufuzi ne bizinensi y’essomero.
 
Asadu Wamala dayirekita w’essomero lya Wamala Mixed Secondary School e Mpambire agambibwa okusobya ku bayizi b’essomero lye ebatanneetuuka 
ne mmeetulooni we Harimah Nansubuga olutusiddwa ku kooti eMpigi embeera nekyankalana nga Wamala alumiriza abantu bavuganya nabo mu bizinensi yamasomero okubeera mu kobaane lyokumusibisa.
 
Wamala abadde asibiddwa empingu ku mikono n’enjegere ku Magulu bakira aleekaanira waggulu nti emisango egimuvunaanibwa girimu ebyobufuzi n’ebyemirimu mu bizinensi z’amasomero agamuvuganya.
 
Kino kisaanudde abooluganda lwe n’abakozi be ababadde ku kkooti ne batandika okuleekaanira waggulu nga bakolimira abantu abavunaana omuntu waabwe n’okutiisatiisa abaamawulire be bagamba nti balemedde ku muntu waabwe nga basasulwa oludda oluvunaana Wamala n’ekigendererwa ky’okumutunza ebyobugagga bye.
 
Abaserikale ba kkooti beagezezzaako okukkakkanya abantu ba Wamala ne bagaana nga baleekaanira waggulu ekyabawalirizza okubagoba ne babafulumya kkooti okuzza embeera mu nteeko.
 
Wamala ne mmeetulooni we, Nansubuga baasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ento Maurine Mukoye n’abasomera emisango oluvannyuma n’abasindika ku alimanda e Kigo okutuusa nga January 21, 2020.
 
Wamala avunaanibwa emisango gy’okusobya ku bayizi n’okubatigaatiga gy’agambibwa okuzza mu mwezi gwa October ne November omwaka oguwedde gattako mmeetulooni w’essomero ly’e Harimah Nansubuga avunaanibwa ogw’okuyambako Wamala okusobya ku bayizi be.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.