TOP

Njuki eyali munnamawulire wa Amin aziikiddwa

By Ponsiano Nsimbi

Added 8th January 2020

OBUSIRAAMU bukungubagidde eyali munnamawulire wa Idi Amin Hajji Edirisa Njuki Mayanja 72, eyafiiridde mu ddwaaliro lya Case Hospital ku Buganda Road.

Njuki1 703x422

Sheikh Ndirangwa ng'akulembeddemu okusaalira omugenzi Njuki (mu katono) mu muzikiti e Kibuli. Abalangira Khalifan Kakungulu ne Kassim Nakibinge nabo babaddeyo.

Bya PONSIANO NSIMBI

OBUSIRAAMU bukungubagidde eyali munnamawulire wa Idi Amin 
Hajji Edirisa Njuki Mayanja 72, eyafiiridde mu ddwaaliro lya Case Hospital ku Buganda Road.
 
Hassan Mayanja muto w’omugenzi yateegezezza nti Hajji Njuki amaze omwezi gumu n’ekitundu mu ddwaaliro ng’ajanjabibwa ng’atawanyizibwa obulwadde bwa sukaali ne puleesa.


Nga tanaziikibwa waabaddewo okumusalira n’okumukungubagira mu maka ge e Busega Kigwanya zooni ne ku muzikiti e Kibuli okwakulembeddwaamu Supreme Mufti Sheikh Sulaiman Kasule Ndirangwa eyamwogeddeko ng’abadde omuweereza w’Obusiraamu omulungi era ayagala ennyo eddiini ye. 


Ate omulangira Kassim Nakibinge yamwogeddeko ng’abadde omusajja omwesimbu era alina omukwano ogwannamaddala, omukakamu era omuweereza w’obusiraamu. 

Yasabye ababaka ba palamenti okwongera ku ssente za bajeeti y'eby’obulamu okusobola okutaasa obulamu bwa Bannayuganda. 

Hajji Twaha Kaawaase, omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda yagambye nti Obuganda bufiiriddwa omu ku basajja ababadde beebuzibwako ku nsonga z’ebyafaayo by'eggwanga. 

Njuki aziikiddwa ku kyalo Ssugu mu disitulikiti ey'e Buikwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...

Mushroomscanbeeatenfreshwebuse 220x290

Lya obutiko okuzimba obwerinzi...

Ensonga 4 lwaki olina okulya obutiko