TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusumba akkirizza! ‘Temukebera musaayi omwana wange’

Omusumba akkirizza! ‘Temukebera musaayi omwana wange’

By Musasi wa Bukedde

Added 8th January 2020

Rev. Ronald Kalende “yalokose” ku ssaawa esembayo n’agamba: temunzigyako musaayi.

Angi 703x422

Minisita Nakiwala ( ku kkono) nga Perusi Nabirye amukwasa omwana gwe baabadde bagenda okukebera omusaayi. Mu katono ye Rev. Kalende

Rev. Ronald Kalende “yalokose” ku ssaawa esembayo n’agamba: temunzigyako musaayi. Omwana wa Perusi omukubi w’ennanga mu kkanisa wange. Nze nnamumuzaalamu era nja kumulabirira.

Eno y’entikko y’okuggyawo obulimba mu nsonga za Perusi Serena Nabirye 23, ezimaze ekiseera nga zigulumbya Namirembe.

Tezaakomye kugumbya baawule babiri- Rev. Kalende ow’e Mwererwe ne Julius Matovu ow’e Jjungo ababadde bagambibwa nti balina akawate ku kufunyisa Perusi olubuto.

Akagulumbo kaayingiddemu ne Ssaabadinkoni w’e Kazo, Ven. Emmanuel Ssewanyana ne kitaffe mu Katonda Omulabirizi Wilberforce Kityo Luwalira.

Perusi bwe yazaala omwana nga December 9, 2019 yabulwa gy’alaga okufuna obuyambi. Alumiriza Rev. Kalende okuba taata w’omwana ate Kalende n’akissa ku Rev. Matovu nti y’amanyi eby’omwana.

Eggulo abaawule bombi ne Ven. Ssewanyana baayitiddwa Minisita w’ebyabaana Florence Nakiwala Kiyingi.

Perusi naye yayitiddwa Minisita n’amulagira ayogere taata w’omwana omutuufu n’alemera ku Kalende kyokka Kalende n’abyegaana.

Kwe kusalawo bagende babakebere omusaayi. Kalende ne Perusi bajjuzza empapula ng’ekiddako kubaggyako musaayi.

Minisita yayise abaserikale n’abakungu mu ofiisi ye babatwale e Wandegeya mu musaayi.

Wano Ven. Ssewanyana we yasabidde okwogeramu ne Minisita nga bali bokka. Oluvannyuma baayise Kalende n’abeegattako.

Waayiseewo eddakiika ntono Minisita n’ayita Perusi n’amutegeeza nga Kalende bwe yabadde akkirizza nti ye taata w’omwana. Kyokka Kalende okukkiriza yasoose kwetoloola.

Minisita: Rev. Kalende, tutuuse ku mutendera ogusembayo okukukebera omusaayi. Okakasa tolina kakwate konna ku Perusi?

Rev. Kalende: Ekituufu Perusi naliko naye. Waliwo eyamuntega. Baamundeetera kiro era okumanya yali mupange yajja ne kondomu.

Minisita: Ssebo tetumala budde. Baleete empapula ozijjuze bakukebere omusaayi. Kalende: Bwe twegatta ne Perusi nkakaksa nnakozesa kondomu (Kalende wano akkiriza okujjuza empapula).

Minisita: Eby’omwana obimanyi?

Kalende: Nnyabo Minisita, eby’omwana mbimanyi. Nze kitaawe. Era nzikirizza okutwala obuvunaanyizibwa bwonna ku mwana oyo. Nkakasizza erinnya lya Yisirayiri nnyina lye yamutuuma.

Erinnya ly’ekika nja kusooka kubuuza taata alimpe. Kalende yasitudde omwana we n’amusabira.

Bakkiriziganyizza Rev. Kalende okuwa Perusi 200,000/- buli mwezi okulabirira omwana okutuusa ng’atuuse okusoma, olwo Kalende asasule fiizi. Ssente 200,000/-, Kalende ajja kugattako ez’okujjanjaba omwana ng’alwadde.

Kyokka Perusi yeemulugunyizza nti yasoose kusaba 1,000,000/- kyokka ne bamuwa 200,000/- ezitamala kusasulako nnyumba.

N’agattako nti ku ludda olulala musanyufu kubanga omwana we afunye ekika. Ekirala amazima gavuddeyo kubanga bangi babadde balowooza nti agenderera kutta mbaga ya Kalende.

Kalende ayanjulwa Lwamukaaga lwa wiiki eno mu maka ga Rev. Daniel Sserumbawo ow’e Kiryagonja agali e Zigoti-Mityana.

Rev. Samuel Muwonge akulira ekitongole ky’okubuuliriza enjiri e Namirembe ne mukazi we be bakalabaalaba b’abagole.

Embaga etegekeddwa ku Lwokutaano olujja e Namirembe era baasaba Omulabirizi Luwalira okubagatta. Perusi yali abeera Ntebetebe e Bweyogerere eno Rev. Matovu gye yamuggya n’amuyingiza mu ffamire.

Yabeeranga ne ffamire ya Matovu e Jjungo kyokka n’atwalibwa e Mwererwe ng’eno gye yalabaganira ne Kalende.

Bwe yafuna olubuto, Kalende yalwegaana ensonga n’azissa ku Matovu ekyazuuliddwa nga kikyamu.

Perusi yeekubira enduulu ewa Ven. Ssewanyana n’oluvannyuma ew’Omulabirizi Luwalira eyabayita ne kisalwawo ekkanisa erabirire Perusi ng’emuwa 500,000/- buli mwezi okutuusa ng’azadde babakebere omusaayi.

Kyokka bwe yazaala, Kalende n’amwesamba ekyamuwalirizza okugenda ku poliisi y’e Kanyanya n’aggulawo omusango. Minisita yabiyingiddemu era ensonga n’azigonjoola.

REV. KALENDE YALYA ATYA OBWAWULE

Kitaawe Mukrisitaayo e Namasuba. Ye Ssaalongo Albert Muwanga. Kalende yali mu kitongole ky’abavubuka mu kkanisa ya Makerere West mu Kikoni. Siniya yagisoma ne Rev. Grace Kavuma mu Buddo SS.

Kavuma mutabani w’Omulabirizi Michael Lubowa owa Central Buganda. Kavuma bwe yagenda okusoma Obwawule e South Afrika mu ttendekero lya George Whitefield Theological College e Cape Town, South Afrika yazigirira Kalende naye n’asaba okusoma Obwawule. Ettendekero lyakkiriza okusasulira Kalende ekitundu ky’ebisale by’essomero.

Yatuukirira Namirembe era Omulabirizi Luwalira n’amusemba. Bwe yakomawo ng’Omudinkoni n’atumibwa e Mwererwe.

Kino kyaleetawo okwemulugunya ku muvubuka omuto akyali Omudinkoni okutumibwa mu Busumba obunene obutwala ekkanisa 10 nnamba.

Abeemulugunya nga bagamba nti mu nkola y’e Namirembe omuntu okusoma Obwawule asooka kwekeneenyezebwa n’asembebwa okuva wansi ku kkanisa gy’ava.

Bw’amala okusoma abeera Mudinkoni ng’alabirirwa Omusumba alina obumanyirivu.

Kyokka Kalende teyasomera wano kuyisibwa mu kutendekebwa okuli okutumibwa mu Busumba n’abaako by’ayigirizibwa nga tannayawulwa. Bwe yava e South Afrika yatumibwa butereevu Mwererwe.

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

Rev. Ronald Kalende “yalokose”
ku ssaawa esembayo n’agamba:
temunzigyako musaayi. Omwana
wa Perusi omukubi w’ennanga mu
kkanisa wange. Nze nnamumuzaalamu
era nja kumulabirira.
Eno y’entikko y’okuggyawo obulimba
mu nsonga za Perusi Serena
Nabirye 23, ezimaze ekiseera nga
zigulumbya Namirembe.
Tezaakomye kugumbya baawule
babiri- Rev. Kalende ow’e Mwererwe
ne Julius Matovu ow’e Jjungo
ababadde bagambibwa nti balina
akawate ku kufunyisa Perusi
olubuto.
Akagulumbo kaayingiddemu ne
Ssaabadinkoni w’e Kazo, Ven. Emmanuel
Ssewanyana ne kitaffe mu
Katonda Omulabirizi Wilberforce
Kityo Luwalira.
Perusi bwe yazaala omwana
nga December 9, 2019 yabulwa
gy’alaga okufuna obuyambi. Alumiriza
Rev. Kalende okuba taata
w’omwana ate Kalende n’akissa
ku Rev. Matovu nti y’amanyi
eby’omwana.
Eggulo abaawule bombi ne Ven.
Ssewanyana baayitiddwa Minisita
w’ebyabaana Florence Nakiwala
Kiyingi. Perusi naye yayitiddwa
Minisita n’amulagira ayogere taata
w’omwana omutuufu n’alemera
ku Kalende kyokka Kalende
n’abyegaana.
Kwe kusalawo bagende babakebere
omusaayi. Kalende ne Perusi
bajjuzza empapula ng’ekiddako
kubaggyako musaayi. Minisita
yayise abaserikale n’abakungu mu
ofiisi ye babatwale e Wandegeya
mu musaayi.
Wano Ven. Ssewanyana we
yasabidde okwogeramu ne
Minisita nga bali bokka. Oluvannyuma
baayise Kalende
n’abeegattako. Waayiseewo eddakiika
ntono Minisita n’ayita
Perusi n’amutegeeza nga Kalende
bwe yabadde akkirizza nti ye taata
w’omwana.
Kyokka Kalende okukkiriza
yasoose kwetoloola.
Minisita: Rev. Kalende, tutuuse
ku mutendera ogusembayo
okukukebera omusaayi. Okakasa
tolina kakwate konna ku Perusi?
Rev. Kalende: Ekituufu Perusi
naliko naye. Waliwo eyamuntega.
Baamundeetera kiro era okumanya
yali mupange yajja ne
kondomu.
Minisita: Ssebo tetumala budde.
Baleete empapula ozijjuze bakukebere
omusaayi.
Kalende: Bwe twegatta ne Perusi
nkakaksa nnakozesa kondomu
(Kalende wano akkiriza okujjuza
empapula).
Minisita: Eby’omwana obimanyi?
Kalende: Nnyabo Minisita,
eby’omwana mbimanyi. Nze
kitaawe. Era nzikirizza okutwala
obuvunaanyizibwa bwonna ku
mwana oyo. Nkakasizza erinnya
lya Yisirayiri nnyina lye yamutuuma.
Erinnya ly’ekika nja kusooka
kubuuza taata alimpe.
Kalende yasitudde omwana we
n’amusabira.
Bakkiriziganyizza Rev. Kalende
okuwa Perusi 200,000/-
buli mwezi okulabirira omwana
okutuusa ng’atuuse okusoma,
olwo Kalende asasule fiizi. Ssente
200,000/-, Kalende ajja kugattako
ez’okujjanjaba omwana
ng’alwadde.
Kyokka Perusi yeemulugunyizza
nti yasoose kusaba 1,000,000/-
kyokka ne bamuwa 200,000/- ezitamala
kusasulako nnyumba.
N’agattako nti ku ludda olulala
musanyufu kubanga omwana we
afunye ekika. Ekirala amazima gavuddeyo
kubanga bangi babadde
balowooza nti agenderera kutta
mbaga ya Kalende.
Kalende ayanjulwa Lwamukaaga
lwa wiiki eno mu maka ga Rev.
Daniel Sserumbawo ow’e Kiryagonja
agali e Zigoti-Mityana.
Rev. Samuel Muwonge akulira
ekitongole ky’okubuuliriza enjiri
e Namirembe ne mukazi we be
bakalabaalaba b’abagole. Embaga
etegekeddwa ku Lwokutaano
olujja e Namirembe era baasaba
Omulabirizi Luwalira okubagatta.
Perusi yali abeera Ntebetebe
e Bweyogerere eno Rev. Matovu
gye yamuggya n’amuyingiza mu
ffamire. Yabeeranga ne ffamire
ya Matovu e Jjungo kyokka
n’atwalibwa e Mwererwe ng’eno
gye yalabaganira ne Kalende.
Bwe yafuna olubuto, Kalende
yalwegaana ensonga n’azissa
ku Matovu ekyazuuliddwa nga
kikyamu.
Perusi yeekubira enduulu ewa
Ven. Ssewanyana n’oluvannyuma
ew’Omulabirizi Luwalira eyabayita
ne kisalwawo ekkanisa erabirire
Perusi ng’emuwa 500,000/- buli
mwezi okutuusa ng’azadde babakebere
omusaayi.
Kyokka bwe yazaala, Kalende
n’amwesamba ekyamuwalirizza
okugenda ku poliisi y’e Kanyanya
n’aggulawo omusango.
Minisita yabiyingiddemu era
ensonga n’azigonjoola.
REV. KALENDE YALYA ATYA
OBWAWULE
Kitaawe Mukrisitaayo e
Namasuba. Ye Ssaalongo
Albert Muwanga. Kalende
yali mu kitongole
ky’abavubuka mu kkanisa
ya Makerere West mu
Kikoni.
Siniya yagisoma ne Rev.
Grace Kavuma mu Buddo
SS. Kavuma mutabani
w’Omulabirizi Michael
Lubowa owa Central
Buganda.
Kavuma bwe yagenda
okusoma Obwawule
e South Afrika mu
ttendekero lya
George Whitefield
Theological College
e Cape Town,
South Afrika yazigirira
Kalende naye
n’asaba okusoma
Obwawule.
Ettendekero
lyakkiriza okusasulira
Kalende
ekitundu ky’ebisale
by’essomero. Yatuukirira
Namirembe
era Omulabirizi Luwalira
n’amusemba.
Bwe yakomawo
ng’Omudinkoni
n’atumibwa e
Mwererwe. Kino kyaleetawo
okwemulugunya
ku muvubuka
omuto akyali Omudinkoni
okutumibwa
mu Busumba obunene obutwala
ekkanisa 10 nnamba.Abeemulugunya
nga bagamba nti mu nkola
y’e Namirembe omuntu okusoma
Obwawule asooka kwekeneenyezebwa
n’asembebwa okuva
wansi ku kkanisa gy’ava. Bw’amala
okusoma abeera Mudinkoni
ng’alabirirwa Omusumba alina
obumanyirivu. Kyokka Kalende
teyasomera wano kuyisibwa mu
kutendekebwa okuli okutumibwa
mu Busumba n’abaako
by’ayigirizibwa nga tannayawulwa.
Bwe yava e South Afrika yatumibwa
butereevu Mwererwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’