TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaagala okuvuganya ku ntebe y'ekibiina kya JEEMA beeswanta

Abaagala okuvuganya ku ntebe y'ekibiina kya JEEMA beeswanta

By Deo Ganyana

Added 8th January 2020

Abaagala okuvugnya entebe y'ekibiina kya JEEMA beswanta

Jem1 703x422

Ng’okulonda kw'abakulembeze mu kibiina kya Justice Forum (JEEMA) kubindabinda. Abantu abaagala okuvuganya Omubaka wa Munisipaali y'e Bugiri era pulezidenti w’ekibiina kino, Asuman Basalirwa beeswanta.

Eggulo omuvubuka Gamba Bukhali yavuddeyo n’ategeeza nga bw’agenda okumuvuganya afuuke omukulembeze w’ekibiina kino kubanga ekisanja kya Basalirwa Kiggwaako mu March era tamusuubira kuddamu kuvuganya.

Okusinziira ku ssemateeka wa JEEMA omukulembeze talina kusukka bisanja bibiri gye myaka kkumi nga eKya Basalirwa gikwago mu mwezi era Gamba agamba nti mwetegefu okukwata enkasi y’ekibiina okukitwala mu maaso .

Ono y’akulira abavubuka bonna mu kibiina kino era ye mukwanaganya w’abantu bonna abaagala okuvuganyiza ku kaadi ya JEEMA era agamba nti ebisanyizo byonna ebimufuula omukulembeze abirina .

Bweyabadde mu lukiiko lwa Bannamawulire lwe yakubye mu ku kitebe ky’ekibiina e Mengo yalumirizza Basalirwa okuwubisa Bannakibiina ng’ayita mu mwogezi w’ekibiina kino Abdunull Kyamundu  ng’abagamba ng’esaawa y’okulonda bwekutagenda kubaawo kyokka nga ssemateeka w’ekibiina amumanyi buluungi .  

Gamba Mutabani wa Muhamod Bukhali omu ku batandikawo ekibiina kya JEEMA era agamba nti ekibiina kino mwakulidde okutuusa lweyesowoddeyo okuvuganya ku bukulembeze bw’ekibiina era kimuli mu musaayi .

Okukyusa obukulembeze mu kibiina kya JEEMA kusuubirwa okubaawo mu mwezi gw’okusatu omwaka guno era abakulembeze ku mitendera gyonna okuviira ddala ku pulesidenti okutuuka ku byalo batandise dda okwesowolayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.