TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Engeri gye ntobye okweggya mu ddubi ly’okufuna olubuto nga nsoma

Engeri gye ntobye okweggya mu ddubi ly’okufuna olubuto nga nsoma

By Herbert Musoke

Added 9th January 2020

Winnie Nangendo ow’e Ttuba-Kulambiro mu Nakawa agamba nti okwagala kwesasuliza omulenzi eyamulumya omutima bwe yafuna omuwala omulala kyavaako okufuna olubuto lw’ateeyagalidde nga talina na busobozi ekyali kisaanyizzaawo obulamu bwe.

Live1 703x422

Omumyuka w’omubaka wa Budaaki mu Uganda, Anno Galema (wakati) John Makoha akulira ekitongole kya AVIS/SKY mu Uganda (ku kkono) nga bakwasa Nangendo satifikeeti oluvannyuma lw’okutendekebwa okulimira awafunda mu ngeri y’omulembe.



 Bya HERBERT MUSOKE

OKUKOLA ensobi kya buntu, wabula ekisinga obukulu kwe kugimanya era n’otereeza.

 
Winnie Nangendo ow’e Ttuba-Kulambiro mu Nakawa agamba nti okwagala kwesasuliza omulenzi eyamulumya omutima bwe yafuna omuwala omulala kyavaako

okufuna olubuto lw’ateeyagalidde nga talina na busobozi ekyali kisaanyizzaawo obulamu bwe. 

Anyumya nti: “Bwe nali mu siniya esooka ku Seeta High School, waliwo omulenzi Joel eyankwana kyokka ne ngaana okutuukira ddala mu S4 kuba nali saagala balenzi ate nga naye nali simwagala.

 

 

Bwe twamaliriza S4, teyadda kusoma haaya, wabula ne nsisinkana omulenzi gwe twasoma naye mu pulayimale ayitibwa Phillip era ne twagalana wadde nga twamalako

nga tewali kye tukoze.

 

Mu 2012 nga ndi mu S5, kitange yafa nga kino kyankosa nnyo kuba ne mu bigezo bya S6 saakola bulungi nga bwe nali nsuubira kuba olwo ng’ebizibu bya ssente bitandise era seeyongerayo na kusoma.

 

Mu 2016, Joel yampeereza obubaka obunsaba okubeera mukwano gwe ku mukutu gwa yintaneeti ogwa ‘Facebook’, ne nzikiriza kyokka nga nali simutegedde wabula

yennyonnyolako oluvannyuma ne mmutegeera.

 

Nga tuli mu mukwano ne Phillip, nakizuula nti yalina omuwala omulala. Kino ky’annumya nnyo omutima era wano Joel eyali yannemerako okuva mu S1, we

yafunira omukisa olw’okuyagga kwe nnalina kuba mu kiseera ekyo nali sirina gwe njagala ate nga mpulira nandiyagadde okwesasuza Phillip.

 

Wabula wadde nga nali njagala okwesasuza, Phillip yali antiisa kuba yali mukambwe ate nga buli kimu ayagala kya mangu omwali n’okunkandanga ssente n’okumpeekanga okusula ewaabwe wadde nga nalinga ngaana.

 angendo wakati ngaliko byannyonnyola Nangendo (wakati) ng’aliko by’annyonnyola.

 Nfuna olubuto

Mu biseera bya Ssekukkulu ya 2016, Joel yampita okugenda ewa ssengawe eyali agenze mu kyalo okulya ennaku mmaleyo wiiki nnamba.

Nasooka ne mpalappalanya wabula oluvannyuma naguma ne ngenda nga y’ensobi gye nakola eyali ensaanyirizzaawo obulamu n’ebiseera byange byonna eby’omu maaso.

Joel yankaka omukwano Nawulira nga nseebengerera ne nnejjusa ekyantutte ewa Joel kuba nalina obubonero bwe nali ndabyeko kyokka nalowooza nti oba oli awo tasobola kutuuka awo.

Wabula nali nneerimba kuba yali muvubuka muzibu nnyo.
 
Oluvannyuma lw’omwezi nagenda mu ddwaaliro nga nnina omusujja gw’omu byenda (Typhoid) ne bankebera n’olubuto.
 

 Eno omusawo we yakantemera nti ndi lubuto!

Nawulira ng’ensi yange yonna esaanyeewo nga nninga agudde mu mpompogoma empanvu awatali ayinza kunnyamba kugivaamu era ne mmanya nti obulamu bwange busaanyeewo nga siraba waakutandikira. 

Bwe nategeeza Joel ku by’olubuto, yahhamba nti ye mugumba tasobola kufunyisa
mukazi yenna lubuto.

Nalaba obulamu bwange nga bumementukira mu maaso
gange awatali kye nsobola kukola.

Nazaala omwana omulenzi mu September, 2017. Nali nnina okusooka okutuula nkuze omwana wabula era nga sirina kirowoozo kyonna okuzzaawo obulamu bwange. 

Obulamu nali mbuvuddeko nga maama y’atetenkanya okutubeezaawo n’omwana.

Ntandika okutunda engoye. 

Nga ndi wakati mu birowoozo n’okwekubagiza n’okwekakasa nti ensi yange yasaanawo awatali ssuubi lya kuddamu kuba na bulamu bweyagaza, ne nfuna mukwano gwange gwe nayogerako naye n’ampa ebigambo ebizzaamu essuubi n’okumpa amaanyi okuyimuka n’obuvumu. 

Ono yantegeeza nti embeera gye nalimu si ye yali enkomerero y’obulamu bwange era nga nali nsobola okuddamu ne nsituka ne

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.