TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kabaka akwasizza abazannyi ba Bulemeezi amayinja ag'omuwendo ng'abayozaayoza okuwangula amasaza

Kabaka akwasizza abazannyi ba Bulemeezi amayinja ag'omuwendo ng'abayozaayoza okuwangula amasaza

By Dickson Kulumba

Added 10th January 2020

Kabaka akwasizza abazannyi ba Bulemeezi amayinja ag'omuwendo ng'abayozaayoza okuwangula amasaza

Bab11 703x422

Kabaka ng'akwasa omukungu ejjinja ery'omuwendo

SSAABASAJJA KABAKA alagidde abazannyi mu mpaka z’amasaza ga Buganda bakozese ettutumu lye bafunye mu mpaka zino okutuusa obubaka ku nsonga enkulu ezigasiza awamu abantu naddala eby’obulamu omuli n’okulwayisa obulwadde bwa siriimu.

 

Bino abyogeredde ku kisaawe ky’e Bamunanika mu disitulikiti y’e Luweero mu ssaza ly’e Bulemeezi ku mukolo kwagabulidde Bannabulemeezi n’okubakulisa okuwangula ekikopo ky’amasaza ga Buganda 2019 bwe baakuba Busiro ggoolo 1-0.

 

OBUBAKA BWA KABAKA MU BUJJUVU:

Tukung'aanye wano olwa leero okuyozayoza n’okusanyukirako Bannabulemeezi olw’okuwaangula empaka z’omupiira ogw’amasaza ga Buganda ez’omwaka oguwedde

Tubeebaza olw’okubeera abawanguzi mu mupiira ogwali ogw’okuvuganya okw’amaanyi ennyo. Mu ngeri y’emu twebaza ekitongole ky’e Mmengo ekivunanyizibwa ku mizannyo olw’entegeka y’emipiira ennungi.

 

Twebaza abazanyi,abakulembeze ba ttiimu,abakulembeze b’essaza, Bannabyabufuzi nabo bonna abakwatira ku ttiimu y’essaza.

Obuwanguzi bwe mwatuukako ffenna tubwenyumirizaamu era tusanyuka nnyo okulaba nga buli mwaka, omutindo gw’empaka zino gwe yongera bweyongezi.

 

Empaka zino tuzitunulira ng’erimu ku makubo ag’okwegatta okw’abantu baffe era ettutumu abazanyi lye bafuna tubasaba nti balikozese okutuusa obubaka ku nsonga enkulu ez’obulamu bwaffe omuli n’okulwanyisa obulwadde bwa siriimu mu bavubuka

Tuyozaayoza era amasaza gonna agabadde mu kuvuganya okw’empaka eza 2019.

Njagala okwebaza bonna abatuletedde amakulu n’abo abatusanyusiza era tubagaaliza okujaguza okw’emirembe. Mwebale nnyo mwebalire ddala.

 KATIKKIRO MAYIGA ASABYE BANNABULEMEEZI:

Mu kwogera kwe, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu b’ekitundu kino okukuuma ettaka ly’Obwakabaka n’erya Kabaka erisangibwa mu kitundu kino kubanga balina omukisa nti Kabaka alina Olubiri mu kitundu kino n’olwekyo nga kibakakatako okukuuma Nnamunswa waabwe.

“Omukolo guno gwakubeera n’amakulu nga ttimu esigadde n’amaanyi ne musobola okuddamu okuwangula ekikopo kino mpozzi nga mwagala Buddu ekibatwaleko,” Mayiga bwatyo bweyasomooza Bannabulemeezi okuddamu okuwangula ekikopo ky’amasaza omwaka guno.

Ku mukolo guno Kabaka akwasizza ab’e Bulemeezi, ekikopo ekiwunde obulungi ng’ekirabo ky’ekijjukizo olw’obuwanguzi buno, n'akwasa buli muzanyi n’abakungu ba ttiimu y’e Bulemeezi ejjinja ery’omuwendo okuli obubaka obumuyozayoza olw’obuwanguzi bwe baatusa ku ssaza ly’e Bulemeezi.

Ye Minisita w’emizannyo mu Buganda, Henry Ssekabembe Kiberu ategezezza ng’omukolo guno bwegwongedde amaanyi mu mpaka z’amasaza ng’era bakwongera okulaba nga zidda ku ddaala eddala.

Kkangaawo Ronald Mulondo nga yatwala essaza ly’e Bulemeezi yebazizza Kabaka Mutebi II olw’okutumbula eby’emizannyo mu Buganda ng’atambulira mu buufu bwa bakadde be nga kitaawe Ssekabaka Muteesa II ku kisaawe ky’e Bamunanika weyasambiranga omupiira era n'awera okukulemberamu essaza lino okweddiza ekikopo kino.

Ssentebe wa disitulikiti y’e Luweero Ronald Ndawula yeyabadde Ssentebe w’omukolo guno era yebazizza bonna mu kitundu kino nga bakulemberwamu Minisita w’ebyenjigiriza ebyawaggulu Dr. JC Muyingo era nga ye mubaka wa Bamunanika mu Palamenti, eyawaayo ensimbi ezisukka obukadde butaano olw’okubakwatirako omukolo guno.

Ku mulundi guno n’abavujjirizi ba ttiimu y’e Bulemeezi nga bakulembeddwamu Gen. Salim Saleh, Charles Nsereko ne mukyala we Rose Namayanja Nsereko n’abalala, Kabaka abakwasizza amayinja agabeebaza olw’obuwagizi era Nsereko ne yeyama okwongera okuwagira ttiimu.

Omukolo gwetabiddwako Bannaddiini okuli Omusumba w’e Kasana- Luweero Paul Ssemwogerere,Omulabirizi w’e Luweero, Eridadi Nsubuga,Ababaka ba palamenti okuva mu bitundu ebikola Bulemeezi okuli Lilian Nakate,Abraham Byandala, Sarah Najjuma ne Edward Ssembatya owa Katikamu South n’abaami ba Kabaka ku mitendera emirala gyonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.