TOP

Museveni amalirizza olw’e Birembo

By Kizito Musoke

Added 10th January 2020

PULEZIDENTI Museveni amazeeko kkiromita 195 mu kutambula kw’amazeeko ennaku mukaaga. Okutambula kuno okwatandika ku Lwomukaaga okuva e Galamba mu disitulikiti y’e Wakiso kwetabyemu abantu bangi abaatambudde okumala ennaku omukaaga okutuuka e Birembo mu disitulikiti ye Kakumiro eggulo ku Lwokuna.

Kwetu1 703x422

Museveni n’abamu ku be yatambudde nabo kkiromita 195 mu lugendo lw’e Birembo.

Bya KIZITO MUSOKE

PULEZIDENTI Museveni amazeeko kkiromita 195 mu kutambula kw’amazeeko ennaku mukaaga. Okutambula kuno okwatandika ku Lwomukaaga okuva e Galamba mu disitulikiti y’e Wakiso kwetabyemu abantu bangi abaatambudde okumala ennaku omukaaga okutuuka e Birembo mu disitulikiti ye Kakumiro eggulo ku Lwokuna.

Lyabadde ssanyu jjereere mu batuuze be Kakumiro abaakungaanye ku makubo nga beesibye
essanja ku mitwe n’abalala nga bakutte ebipande bya Museveni mu ngeri y’okumulaga obuwagizi.
Okutambula kuno kwabaddemu okuwalampa ensozi n’okubuuka emigga n’obuwonvu, 
era abamu obwedda balabika  nga bakooye, ate abalala nga bafuna entambula ennyangu
n’ebasomosa okubatuusa mu kifo ekiba kiddako Pulezidenti w’aba agenda okwogererako eri abantu.


Ebimu ku bitundu bye bayiseemu okuva e Wakiso mulimu; Nakaseke, Mubende, Kiboga, Mityana, Kassanda okutuuka e Birembo - Kakumiro mu Bunyoro.

Yonna Pulezidenti gy’ayise abantu babadde bamwaniriza mu bungi nga bwe bamunnyonnyola
ebizibu ebibanyiga omuli,amasomero amabi, enguudo ezirimu ebinnya, ssente z’akasiimo
n’ebizibu ebirala.

 bamu ku baana babaazirwanako nga bali ne ulezidenti useveni e utorogo mu disitulikiti ye ubende Abamu ku baana b’abaazirwanako nga bali ne Pulezidenti Museveni e Butorogo mu disitulikiti y’e Mubende.

 



Eky’okusisinkana abaazirwanako kyasanyusizza Museveni n’ategeeza nti kimuyambye okulaba abantu b’aludde okusisinkana n’okwongera okumanya embeera gye balimu.

“Bye mumbuulidde bigenda kunnyamba okutereeza ebibadde bitambula bulungi kuba nsisinkanye abantu abeetaba mu lutalo olwaleeta Gavumenti ya NRM mu buyinza,” bwe yayogedde ng’ali e Nakaseke.

Mu kulwana baakozesa nnyo akakodyo k’okuwamba ebyokulwanyisa okuva ku baserikale ba Gavumenti era nga we baatuukira olwa Januray 9, 1985 baali bawezezza ebyokulwanyisa 650 omwali emmundu n’ebyokulwanyisa ebirala.

Abasinga abaatambudde baabadde bavubuka obwedda pulezidenti b’ayita ‘abazzukulu’ nga baafunye omukisa okusomesebwa okuva mu balwanyi abenjawulo engeri olutalo gye lwatambulamu.


Lydia Kalemeera, akulira abavubuka ba NRM e Mityana yatender ezza abaazirwanako n’agamba nti obukoowu bw’awulira akakasizza nti ddala beewaayo okununula eggwanga.

Malik Kiberu eyavudde e Mukono yagambye nti ng’abavubuka baafunye omukisa okulambula n’okumanya ebintu bye babadde tebamanyi ku lutalo olwaleeta NRM mu buyinza.


Abaatambudde baasooka kukuhhaanira ku kisaawe ky’eggwanga e Kololo ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde ne baluhhamizibwa ku bintu bye baalina okugoberera nga batambula. Abantu ab’ebiti eby’enjawulo okuli bannabyabufuzi ku mitendera egy’enjawulo, abayimbi okuli; Daniel Kazibwe (Ragga Dee), Hassan Ndugga, Michael Mugwanya (DJ Michael), Catherine Kusasira, Full Figure n’abalala bangi.

Ebyokwerinda bibadde gguluggulu yonna gye baatambulidde nga kubaddeko n’emmotoka
za ambyulensi ezibadde zitambula okuyamba ababa bafunye obuzibu.

Olwaleero ku Lwokutaano gwe mukolo omutongole ogukomekkereza okutambula nga gwakubeera Birembo mu Kakumiro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana