TOP

Kkwiini munyiivu

By Musasi wa Bukedde

Added 11th January 2020

AMAWULIRE ga Daily Mail gaategeezeezza nti Kkwiini si musanyufu ku ngeri Harry gye yeeyisizzaamu.

Queen 703x422

Kyokka ensonda mu Lubiri zigamba nti Kkwini yayise olukiiko olw’amangu era n’alagira omulangira Charles okukakasa nti agonjoola ensonga za Harry mu bwangu nga bamuwa ebintu eby’enjawulo kw’aba alonda ky’akkaanya nakyo mu kifo ky’ekyo kye yabadde asazeewo ne mukyala we Meghan eky’okweyambula obuvunaanyizibwa.

Kigambibwa nti Harry yayitiddwa mu lubiri lwa Kkwiini ku nsonga eyo kyokka ye mukyalawe Meghan yavudde dda mu Bungereza n’addayo e Canada gy’ayagala okubeera yeetegula ekibabu ky’Abangereza abataamye obugo nga bamulumiriza okulalula n’okwonoona omwana waabwe Harry.

Meghan abadde yaakamala ennaku ssatu mu Bungereza nga bava e Canada gye baabadde ne bba mu biseera by’ennaku enkulu.

Ekiraga nti bazze nga beetegese kuddayo Canada gye baagala okubeera kwe kuba nti omwana waabwe Archie ow’emyezi omunaana tebazze naye, baamuleseeyo e Canada era Meghan gwe yazzeeyo okusanga n’aleka Harry nga yeezooba n’olulyo olulangira era n’Abangereza ku kukusalawo kwabwe okubeekutulako.

Ebirala ebizze binyiiza Omulangira Harry

Okuva Harry lwe yasalawo okuwasa omukazi Omumerika ate nga Muddugavu waliwo Abangereza bangi be kitaasanyusa.

Waliwo n’ebifaananyi ebyafulumizibwa amawulire ge Bungereza ku nkomerero y’omwaka oguwedde nga biraga nti omulangira Harry yali waamukaaga mu lunyiriri lw’abantu abaali balindiridde okulya Nnamulondo ya Bungereza era kino ne bakigattako ekifaananyi ky'abantu bana bonna abasinga okuba ku mwanjo mu lulyo olulangira lwa Bungereza, Kkwiini, Charles, William ne mutabaniwe George.

Harry azze yeemulugunya mu buto bwe bwe yali aweza emyaka 12 nga nnyina afudde bwe yatambuzibwa akabanga ng’agenda awerekera omulambo gwa nnyina ng’abantu bukadde na bukadde abaali basimbye ku mabbali g’ekkubo n’abalala abaali bamulabira ku ttivvi nga bamwegese amaaso nga bw’akungubagira nnyina kyamukosa nnyo ne kimuleetera okwennyika mu bwongo okutamuvangamu era yategeezezza nti okusigala ng’akola emirimu egyo gye yeeyambudde kyandiddamu okumukosa mu birowoozo ne mu bwongo.

Embeera eno agamba nti buli lwagijjukira alabira ddala nga tebaamuyisa bulungi era agamba nti si kya bwenkanya ku mwana omuto okukimukola.

Harry 35 ne Megahan 38 baludde nga beetegekera okwekutula ku lulyo olulangira era baatuuka n’okuwandiisa n’okuggulawo omukutu gwa yintaneeti ogwabwe bokka gwe baawandiisa nga tebategeezezza ku Kkwiini.

Ensonda era zigamba nti Harry azze yeemulugunya nti obuvunaanyizibwa obubaweebwa ng’abalangira bwetaaga okukyusaamu okutuukana n’omulembe ate babeere nga basobola okufuna obudde obukola ebintu ebyabwe ku bwabwe.

Kyokka kino Abangereza bakiwakanya nga bagamba nti obulangira tebubeera bwa kyeyagalire nti osobola okubeera Omulangira nga totwaliddeeko buvunaanyizibwa bugenderako.

Ekirala, kigambibwa nti era abooluganda Harry ne mukulu we William, tebakwatagana nga Harry afunye Meghan n'ayanguyiriza okumuwasa so nga nnyabwe yali abawabudde nti beekkenneenyanga abakyala bwe bandituusizza okuwasa ne batagwa mu nsobi nga ye ze yali afunye ne Charles.

William okufumbirwa Kate yali amaze emyaka kumpi musanvu nga akyamwekkaanya.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi