TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyagenze okubanja bamukubye essasi ne limuyuza ekisambi!

Eyagenze okubanja bamukubye essasi ne limuyuza ekisambi!

By Henry Kasomoko Henry Kasomoko

Added 12th January 2020

EYAWOLA ow’ebbaala bamukubye essasi bw’agenze okubanja ssente ze. Essasi lyamuyuzizza ekisambi nga kati apooca n’ekiwundu mu ddwaaliro e Mulago.

Move1 703x422

Kyolaba gwe baakubye essasi ng’agenze okubanja.

Bino byabaddewo mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano, Immaculate Kyolaba Nakalema 31, omutuuze w’e Kikubamutwe okumpi ne Kabalagala mu munisipaali y’e Makindye bwe yakubiddwa essasi.

Omusajja eyakubye Kyolaba essasi olwamalirizza n’alinnya ppikipiki n’abulawo.

Kyolaba agamba nti yawola mukwano gwe Annet ssente obukadde bubiri kyokka aludde nga buli lw’amusaba amusasule amuwoleza jjo jjuuzi naye kwe kusalawo ku luno amulumbe. Kyolaba musibi wa nviiri.

Poliisi y’e Kabalagala yatuuse ku bbaala eno we baakubidde Kyolaba essasi n’emuggyawo n’emutwala e Mulago.

Kyokka tewali gwe yakutte kuba yasanze ne bannannyini bbaala baggaddewo nga badduse ekibambulira.

Kyolaba gwe twasanze e Mulago ku kitanda yagambye nti yabadde akyabanja Annet ssente ze, omusajja eyabadde mu bbaala kyokka ng’ayambadde engoye eza bulijjo n’asikayo bbaasitoola n’amukuba essasi ku kisambi.

Kyolaba we baamukubidde essasi, yabadde akangudde ku ddoboozi olwa Annet okwongera okumubuzaabuza.

“Olwamaze okunkuba essasi nneewaludde ne nfuluma ebbaala olwo nnannyini bbaala n’agoba bakasitoma abaabadde bakyanywa omwenge n’ekyaddiridde kwe kuggalawo bonna ne badduka ne bandeka awo,” Kyolaba bwe yategeezezza.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yategeezezza nti omusajja eyakubye Kyolaba essasi yadduse naye bamunoonya.

Owoyesigyire era yagambye nti ne nnannyini bbaala awaabadde akavuyo yaggaddewo n’adduka kyokka n’awera nti tajja kugumaza mbiro.

“Tulinze Kyolaba atereeremu atunnyonnyole ebyabaddewo kyokka bonna abeetaagibwa bajja kukwatibwa.” Owoyesigyire bwe yawunzise.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Troubled 220x290

Oulanya agugumbudde abazadde abataweerera...

Omumyuka wa sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanya agugumbudde abazadde abeesuuliddeyo ogwa nnaggamba okuweerera abaana...

Young 220x290

Abalokole batadde Gavt. ku nninga...

ABASUMBA b’abalokole batadde gavumenti ku nninga okubawa layisinsi ezibakkiriza okugatta abagole wabweru w’ekkanisa....

Kolayo 220x290

Bayisizza bajeti ya bukadde 200...

ABASUUBUZI mu Kikuubo ne Nabugabo bakungubagidde maama w’omugagga Moses Kayongo nnannnyini Mt. Zion Hotel esangibwa...

Kola 220x290

Agambibwa okubba kasooli bamukubye...

ABASERIKALE ba LDU baliko omuvubuuka gwe bakutte lubona mu lusuku ly’omutuuze ng’abba kasooli ne bamukuba amasasi...

Okutulugunya abakyala kweyongede...

Joan Nakilanda nga ono Alina emyaka 21 yafumbirwa nga alina omyeka 17 era nazala omwana we asoka neba. Oluvanyuma...