TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Lukululana eremedde omugoba waayo n'eyingirira amaduuka ku Musanvu ku Mbuzi

Lukululana eremedde omugoba waayo n'eyingirira amaduuka ku Musanvu ku Mbuzi

By Moses Lemisa

Added 12th January 2020

LUKULULANA ebadde ettise bbuliti eremedde omugoba waayo bw'egaanye okusiba n’eyingirira ekikomera n'amaduuka n’ekutukamu ebitundu bisatu ddereeva wayo n'atwalibwa mu ddwaliro ng'embeera mbi.

Kamu1 703x422

Lukululana eyakoze akabenje n'ekutukamu ebitundu 3. EBIFAANANI BYA MOSES LEMISA

LUKULULANA  ebadde ettise bbuliti  eremedde omugoba waayo bw'egaanye okusiba n’eyingirira ekikomera n'amaduuka n’ekutukamu ebitundu bisatu ddereeva wayo n'atwalibwa mu ddwaliro ng'embeera mbi.

Akabenje  kaaguddewo mu kiro ekyakeesezza ku Ssande  ssaawa 8  ku mayiro 7 ku luguudo lw'e Gayaza ku Mbuzi, lukululana nnamba UAB 285Z eyabadde evugibwa Antony Agadde ng’ettise bbuliti ng’eva Rukungiri bwe yatuuse ku 7 n’egaana okusiba n’ekola akabenje n’ekutukamu ebitundu tu 3 dereeva n’atwalibwa mu ddwaliro lya Doctor’s Medical Centre e Mpererwe ng’ataawa.

Helen Kankwase  nnannyini bbuliti yategeezezza nti Agadde  yasimbula e Lukungiri ku Lwokutaano wabula bwe yatuuka mu Nyendo e Masaka mmotoka ne mufaako nasooka agikanika nga yatuuse e Kyanja  ku kibanda ssaawa 6 ez’ekiro ku Lwomukaaga nasimba mmotoka.

Alex Katamba eyabaddewo yategeezezza nti lukululana eno yavudde e Kyanja ng’eri ku misinde egya yiriyiri ng’obuzibu bwavudde kugaana kusiba nesalamu mu luguudo n’ekuba ekikomera omutendekebwa abasirikale ba securiko butcher n’edduuka eritunda engoye ,

Owa tulafiki eyabaddewo yategeezezza nti baasobodde okufuna ebiwandiiko bya  ddereeva kwe yatikkidde embaawo kyokka ebirala byatwaliddwa abadduukirize ababbye n'engoye ezaabade mu dduuka eryatomeddwa.

 Edduuka ly'engoye erimu ku gakooneddwa

 ankwase nnanyini bbuliti ezaabadde ku lukululana eyakoze akabenje Kankwase nnannyini bbuliti ezaabadde ku lukululana eyakoze akabenje

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.