TOP

Eyagabye ekibanja kya muganda we omugenzi gamumyuse

By Saul Wokulira

Added 13th January 2020

Omukadde eyagabanyizza ekibanja kya muganda we n'agoba namwandu n'abaana gamumyuse ne yeetonda

Lubeganempaanyizebaamukuuzisizzamukibanjakyannamwandukyeyabaddeyegabanyizzawebuse 703x422

John Lubega eyabadde agabanyizza ekibanja kya muganda we eyafudde ng'akudde empaanyi ze yabadde asimbye

Bya Saul Wokulira   

Omukadde amaaso gamumyuuse ab'obuyinza bwe babadde bamukunya olw'okwegabanya ekibanja n'aleka namwandu ne bamulekwa mu maziga.

Bino bibadde ku kyalo Kisawo mu Kayunga Town Council mu disitulikiti y'e Kayunga.

John Lubega, y’atuuyanye nga bwe zikala ofiisa alondoola ebintu by'abafu e Kayunga, Collins Kafeero bw'abadde amusoya kajojijjogi w'ebibuuzo lwaki yeegabanyizza ekibanja kya muganda we, Godfrey Luwunge eyafiiridde mu bikujjuko by'okuyingira omwaka omupya.

 vunaanyizibwa ku bintu byabafu e ayunga ollins afeero ngakunya ubega Avunaanyizibwa ku bintu by'abafu e Kayunga, Collins Kafeero ng'akunya Lubega

 

Kafeero atugambye nti, Lubega akkirizza nga bwe yakola ensobi era yeetondedde namwandu Justine Nabukeera n'empaanyi ze yabadde asimbye n'azisimbulamu.

Lubega olwamaze okuziika muganda we yatandikiddewo okunoonya abagula ekibanja era yagenze n'akisalaasalamu n'empaanyi ne yeegabirako ekitundu n'abaana be abamu ku baana b'omugenzi baaviiriddemu awo. 

Oluvannyuma yalagidde Nabukeera okufulumya engugu n'abaana abataafunye abatwale kubanga tebaafaanana mugenzi era balabika si babe.

 amwandu wa uwunge ustine abukeera Namwandu wa Luwunge, Justine Nabukeera

 

Namwandu Nabukeera yadduse mu ofiisi ya Kafeero eyagenze ku kyalo ensonga ne bazituulamu era okukkakkana nga Lubega yeetondedde namwandu n'empaanyi ze yabadde asimbye ng’agabanya ekibanja n'azikuulayo.

Kafeero alabudde bonna abeewa obuyinza ne badobonkanya ebintu by'abafu n'okubigaba nga tebafunye lukusa okuva ew’avunaanyizibwa ku bintu by’abafu kubanga bw'anaabakwatako kaakubajjuutuka.

Oluvannyuma lw'okukuula empaanyi yalinnye pikipiki ye ne banne ne yeeyongerayo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana