TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaaferebwa eza Crypto Currence beekalakaasirizza ku kkooti

Abaaferebwa eza Crypto Currence beekalakaasirizza ku kkooti

By Alice Namutebi

Added 13th January 2020

Abaaferebwa eza Crypto Currence beekalakaasirizza ku kkooti

Set12 703x422

ABANTU abaaferebwa mu nkola ya Crypto currency beekalakaasizza ku kkooti e Mengo bwe balabye Ku Andre Kaggwa Kulumba agambibwa okubafera ssente zaabwe.
 
Bano bazze n'ebipande okuwandiikiddwa ebigambo ebivumirira Kulumba n'okusaba pulezidenti Museveni ayingire mu nsonga zaabwe alagire Kulumba okubasasula.

Bategeezezza nti abamu ssente baali bazeewoze mu Banka kati looni zibatudde mu bifuba ate abalala baggyayo ze baali baatereka ne bazimuwa nga bamanyi nti zigenda kukola amagoba kyokka Kulumba n'abafera.

 
Kkooti esoose kutuula nga omuwaabi wa gavumenti taliiwo ate nga ne Kulumba baasi ye Luzira tennamuleeta okuva e Luzira omulamuzi Joel Wegoye omusango nagwongezaayo paka Ku Lwokunna lwa wiiki eno.

Abantu abaferebwa babadde bakafuluma kkooti newabaawo ababagulizaako nti Kulumba bamuleese ali mu kkooti awo embeera weyonoonekedde nebekalakaasa era babadde bagala omulamuzi addemu ayite fayiro kyokka nagaana nga agamba nti fayiro yagyongezaayo dda tasobola kugiddamu.

 
Kulumba ngayita mu kkampuni ye eya Crptocurrency agambibwa okufera abantu ssente ezisoba mu buwumbi 10 naye bakamuggulako fayiro emu yokkq yakufera paasita Ssemakula obukadde obutemera mu 200.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu