TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Teddy ekkanisa agitadde ku Bat Valley we yatandikira ne Bugingo

Teddy ekkanisa agitadde ku Bat Valley we yatandikira ne Bugingo

By peter ssaava

Added 13th January 2020

TEDDY Naluswa Bugingo Ekkanisa ye asazeewo agiteeke ku Bat Valley, we baatandikira ne bba emyaka kumpi kkumi egiyise.

Teddybugingo1 703x422

Teddy ng’abuulira ku Bat Valley.

Bya PETER SSAAVA
 
TEDDY Naluswa Bugingo Ekkanisa ye asazeewo agiteeke ku Bat Valley, we baatandikira ne bba emyaka kumpi kkumi egiyise.
 
Yagigguddewo mu butongole eggulo era kwe kubuulira okwasoose.
 
Yayingiridde mu nduulu okuva mu ndiga ze ezaabadde zaatudde dda okuwulira
ekigambo obwedda abagoberezi kye boogerako ng’ekitaliimu “volongoto”.
 
Yalinnye ku kituuti ku ssaawa 5:00 ez’oku makya wakati mu bukuumi obw’amaanyi. Teddy ekkanisa ye eya Word of Salvation Ministries International yagitadde ku Bat Valley Theatre mu Kampala ekifo kyennyini we baatandikira ne bba Aloysius Bugingo bwe yali tannadda ku Canaan Land e Makerere we baagula ettaka.
 
Abantu abasoba mu 300 be beetabye mu kusaba kuno era bangi kw’abo baavudde
mu kkanisa ya Bugingo nga bagamba nti kibadde kibaswaza okusigala mu Kkanisa
etakyatambulira ku nnono za Bayibuli ezikugira obwenzi n’okwawukana kw’abafumbo.
 
Waasooseewo nnyimba z’okutendereza Katonda ssaako essaala ez’omujjirano nga
zikulemberwa Charles Kyomu omu ku baava ewa Bugingo ne beegatta ku Teddy Naluswa Bugingo.
 
Ebyokwerinda byabadde bya maanyi nnyo nga buli ayingira asooka kwazibwa nga ne Teddy bwe yalinnye ku kituuti waliwo abaserikale abaasigadde bakuuma ku miryango egiyingira mu kifo kino.
 
Teddy yalambuludde lwaki yasazeewo kudda mu kifo we baatandikira ne bba ekkanisa
n’agamba nti yalabawo amafuta mangi nnyo n’asalawo akomewo kuba Katonda
yamulaze nga ky’ekifo ekituufu eky’okuteekamu ennyumba ya Mukama.
 
“Bwe twamala okutongoza ekkanisa eno ku Hotel Triangle, natandika okunoonya we nnyinza okuteeka ekkanisa okutuusa Mukama lwe yandaze ekifo kino era nneebaza Katonda olw’okunnung’amya obulungi.” Teddy bwe yagambye wakati mu mizira.
 
Yasabye abantu okwerabira okusoomooza kwe babaddemu mu mwaka omukadde wabula batambule ne Katonda mu mwaka guno omupya.
 
Yagambye nti guno mwaka gwa kusonyiwa era naye buli eyamukola ekibi amusonyiye
asobole okubuulira ekigambo kya Mukama nga mutukuvu eri buli omu.
 
Yasabidde abantu abazze mu bungi essaala ez’amaanyi n’abasaba okutambula ne
Katonda mu buli bye bakola basobole okubeera abawanguzi mu byonna.
 
Yasabidde amaka okunywera, obugagga n’okusumululwa mu bya bizinensi n’emirimu n’asabira n’abalwadde.
 
Okusaba kwawedde ku ssaawa 8:00 era Teddy n’ategeeza abagoberezi nti buli Ssande bagenda kusabiranga mu kifo ekyo era n’abagumya nti Katonda ayimiridde nabo waakubatwala mu maaso mu maanyi kubanga enjiri gye beesigamyeko yeeyo
eri ku musingi gwa Bayibuli omutuufu ogukulembeza okwagala n’okusonyiwagana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....

Apass1 220x290

A Pass yeegobye mu luyimba lwa...

A Pass atabukidde Bebe Cool ku luyimba lwa ‘Corona Distance’, amulanga kumugattika na Fresh Daddy gw'ayita kazannyirizi...