TOP

Ow'emyaka 90 akkukkulumidde poliisi lwa ttaka

By Musasi wa Bukedde

Added 13th January 2020

Mwanje yagambye nti baludde nga bagugulaana ne mukulu mune Christopher Keezala gw’alumiriza okumuwendulira batabani be ne basaawa emmere ye n’ebikajjo. Agamba nti ayolekedde okufa enjala kubanga talina kyakulya.

Webmwanje 703x422

Mwanje gwe basaayidde emmere.

 
 
Bya Rosemary Nakaliri
 
 
Boaz Mwanje Kiggundu 90  ow’e Katete - Kabembe, Kyampisi mu disitulikiti y’e Mukono akkukkulumidde poliisi y’e Nagalama gy’agamba nti temuyambye ng’abantu basaawa olusuku lwe wamu ne ssamba y’ebikajjo.
 
Mwanje yagambye nti baludde nga bagugulaana ne mukulu mune Christopher Keezala gw’alumiriza okumuwendulira batabani  be ne basaawa emmere ye n’ebikajjo. Agamba nti ayolekedde okufa enjala kubanga talina kyakulya.
 
Mwanje agamba nti waliwo abantu bano bwe baamulumba ne bamutegeeza nga bwe basaaye emmere nga omulundi oguddaako bajja kusaawa ye.
Yagambye nti batuuse n’okumwewanirako nga bwatalina kyayinza kubakola ekitadde obulamu bwe mu katyabaaga.
 
Ssentebe w’ekitudu Geofrey Lukwago avumiridde ekikolwa kino era n’alabula abasaawa emmere y’omukaddde nti tagenda kusa mukono okutuusa nga poliisi ebakute n’ebaggalira.
 
Yagambye nti bwe banaakwatibwa ajja kusaba ab’amateeka babalagire okuliyirira omukadde kubanga bamuyisa bubi okutema emmere ye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wez1 220x290

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza...

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza eri abantu be Buikwe

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi

Lip21 220x290

Agambibwa okusaasaanya obutambi...

Agambibwa okusaasaanya obutambi bw’okutta Nantaba addukidde wa Akullo