TOP

Abaswezi batuuzizza Bujagaali omupya

By Musasi wa Bukedde

Added 13th January 2020

Omukolo guno baagukoze ku Lwomukaaga emisanattuku, awatali na kutya nti Obwakyabazinga oba ab’ebyokwerinda bayinza okubagugumbula.

Bujaagaliweb 703x422

Yiga Kirunda ( ku kkono) eyatuuziddwa mu kifo kya Bujagaali.

Abaswezi baaziimudde ekiragiro ky’Obwakyabazinga, bwe baakoze emikolo ku Dhaadha Nabamba Bujagaali ne bamutongoza nga ‘Ssebibandwa’ w’e Bujagaali omutuufu.
Baamusazeeko enviiri ne bamukolako emikolo gy’obuwangwa.
 
Wakati mu kusindogoma kw’ehhoma n’okunyanyagaza emirere,  Abaswezi emikolo baagikoze okukakasa nti  Hassan Yiga Kirunda 32,  ye Bujagaali omutuufu, kubanga ababadde bamuyita ow’ekiwaani balemeddwa okuleeta gwe bagamba nti, ye mutuufu.
 
Omukolo guno baagukoze  ku  Lwomukaaga emisanattuku, awatali na kutya nti Obwakyabazinga oba ab’ebyokwerinda bayinza okubagugumbula.
 
Mmandwa Luuka Isabirye eyavudde e Luuka, yagambye nti nga bwe gubeera mu kulonda abakulembeze ab’eddiini n’abawanda eddusu ku Bujagaali omupya balina kubeera Baswezi.
 
Abaakoze omukolo ye; maama Busoga eyavudde e Bukholi,  Katuukiro w’obwa Bujagaali bwa Kiyira, Mmandwa Waiswa n’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu

Employed 220x290

Akwana abawala n'ababba poliisi...

POLIISI ekutte omusajja agenda mu bbaala n’ebifo ebirala ebisanyukirwamu n’akwana abawala n’ababbako ebintu byabwe....

Sit51 220x290

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja...

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja kya University League

Kubayo 220x290

‘Bobi teyeewandiisanga kuvuganya...

WADDE ng’akakiiko k’ebyokulonda ke kakkiriza omubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) okwebuuza...