TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gavumenti etongozza okuzimba enguudo mu kibangirize e Namanve

Gavumenti etongozza okuzimba enguudo mu kibangirize e Namanve

By Joseph Mutebi

Added 13th January 2020

Gavumenti etongozza okuzimba enguudo mu kibangirize e Namanve

BANNANNYINI makolero agasangibwa mu kibangirizi ky’e Namanve  basiimye gavumenti okubajjukira ne teekamu ssente okubazimbira enguudo okwetoloola ekifo kyonna kubanga engudo zikola kinene ku nkulaakulana y’eggwanga.

“Ffe twewaayo okulaba nga tutandikirawo bannayuganda emirimu nga tuwagira omulanga gw’omukulembeze w’e ggwanga naye ebimu ku bizibu bye tubadde tusinga okusanga mu kitundu kino mwetukolera z’enguudo embi” bwatyo Omugagga Joseph Yiga owa Steel and Tube eyayogedde ku lw’abagagga banne abalina amakolero  e Namanve.

Yiga ategeezezza nti bo nga bannanyini makolero babadde basinga okusanga ebizibu omuli enguudo embi, amasannyalaze agabadde gaviirako ebyokwerinda okubeera ebibi obutaba namyala ng’ate ekitundu kye bakoleramu kya lutobazi ekibadde kyavaako amazzi okwanjala mu kitundu kyonna n’ebirala naye ekirungi gavumenti ebisinga byonna ebizzemu omulundi gumu.

Wabula Yiga asabye  ekibiina ekigatta bannamakolero ekya “Uganda Investment Authority” okuvaayo n’enkola ennungamu nga batuuma enguudo z’omu kibangirizi kino amannya  aganayanguyira abakozesa amakubbo gano okutuuka gye balaga amangu.

“Siwagira bagagga bannannyini makolero okutuuma enguudo zino amanya gaabwe oba ag’amakolero gaabwe ng’ate tusobola okugatuuma amanya amangu nga  “1st Street , 2nd street n’okutuuka gye baagala” nga kino kijja kuyamba okwanguyiza okulagirira abantu gye baaba baagala okugenda.

Bino Yiga abyogeredde ku mukolo gavumenti kweyabadde entongoleza n’okukwasa aba kampuni ya Lagan Dott , ekola enguudo omulimu gw’okukola enguudo zonna eziri mu kibangirizi kino ku ssande.

Omukolo gwakulembeddwamu minisita w’ebyentambula Gen. Katumba Wamala ne minisita omubeezi ow’aba bamusiga nsimbi,  Evelyn Anite ng’era omugenyi omukulu yabadde minisita wa gavumenti ya Bungereza ow’e nkulaakulana mu Afrika Andrew Stephenson.

Gen .Katumba yasiimye kampani ya Lagan eya Bungereza eyawereddwa okukola enguudo zino okukwatagaana n’eya wano eya “Dott Services” kubanga kiyamba okuwa ku bannayuganda emirimu.

“Nsaba abakwasiddwa omulimu guno mu kimanye nti sigenda kukkiriza kukola mulimu mu ngeri yagadibe ngalye era ngenda kugulondoola emyezi 42, gyonna gye munamala nga muzimba kiromita ezisukka mu 100” bwatyo Katumba bweyategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lim1 220x290

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako...

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako omujaasi omutwe ne gubula

Wez1 220x290

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza...

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza eri abantu be Buikwe

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi