TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba UPDF abaatwalibwa e Somalia tebanasasulwa musaala

Aba UPDF abaatwalibwa e Somalia tebanasasulwa musaala

By Muwanga Kakooza

Added 13th January 2020

AMAGYE gatangaazizza nti kituufu abamu ku bajaasi ba Uganda abaatwalibwa e Somalia okukuuma emirembe tebanasasulwa musaala gwabwe lwa kuba ekibiina ky’amawanga amagatte (AU) ekirina okugusasula tekinawereza ssente.

Updftroopsinsomaliaonpatrolinthelowershabelleregion 703x422

Omwogezi w’eggye lya UPDF Brig. Richard Karemire yakakasizza bino n’agamba nti okusindika amagye e Somalia kyakolebwa mu ngeri eraba  ng’omuwi w’omusolo wa Uganda ssi ye yeyetikka omugugu gw’okusasulira okubeerayo kwabwe.

N’agamba nti amagye ga Uganda agali e Somalia galina kusasulirwa kibiina ky’amawanga amagatte ekya UN n’eky’omukago gwa Afrika ekya African Union.

Kino kidiridde Pulezidenti wa FDC Patrick Amuriat okwemulugunya nti ekibinjq ky’amagye ga Uganda ekyagenda e Somalia ekya Ungu5 ekirimu abajaasi nga 530 tekinaba kusasulwa nsimbi za kugendayo.

Era n’asaba ekitongole ky’amawanga amagatte okussa akazito ku UPDF okusasula abajaasi bano.Yemulugunyizza nti waliwo n’ensimbi eziwera ddoola 270 ezitamanyiddwa kye zikola ezibasalwako n’endala ddoola 70 ezibasalwako nti za kugula yinifoomu.

N’agamba nti buvunaanyizibwa bwa FDC okulaba ng’amagye ne poliisi biyisibwa bulungi wadde ebitongole byombi bizinya ab’ekibiina kino n’ab’oludda oluvuganya oluguje.

Yagambye nti FDC ekimanyi nti abajaasi oba aba poliisi ssekinomu ssi be baabagala okubatulugunya wabula bakikolera ku biragiro bya bakama baabwe.

Kyokka Karemire yagambye nti ensonga z’abajaasi ba Uganda abali e Somalia zoogeddwaako okumala ebbanga era ne zitwalibwako ne mu palamenti.

N’agamba nti ensimbi ezisalwa ku bajaasi zikola ku bintu ebitali bimu ebibaawo ng’eggye terinatandika mirimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kalende1 220x290

Omusaayi guyiyeeyo Rev. Ronald...

REV. Kalende yasoose kwekyusa ng’agamba nti bwe yagenze mu ofiisi ya Minisita Nakiwala Kiyingi, baamukase okukkiriza...

Seb12 220x290

Ssebalamu akoledde muwala we akabaga...

Ssebalamu akoledde muwala we akabaga k'okumala okusoma n'amukubiriza okubeera nga Ham

Ac1 220x290

Aba Takisi ku Kalerwe bagudde mu...

Aba Takisi ku Kalerwe bagudde mu lukwe lw'okuwamba stage yaabwe

Koudjis1 220x290

Abalunzi baakutendekebwa ennunda...

ABAKUGU mu kulabirira n’okuliisa enkoko n’embizzi bakunze abantu bonna abalunda n’abaagala okutandika okulunda...

Tiya1 220x290

Ttiyaggaasi anyoose mu kikwekweto...

POLIISI ekubye amasasi mu bbanga n’omukka ogubalagala okugugumbula abatuuze abaatabukidde aba UMEME nga bawakanya...