TOP

Ssente zitabudde Kalifah Aganaga ne Chris Johnz

By Martin Ndijjo

Added 13th January 2020

Ssente zitabudde Kalifah Aganaga n’omuyimbi Chris Johnz baawukanye nga babigwo wakati mu kwerangira.

Kali 703x422

Kalifah (ku kkono) ne Chris Johnz

Entabwe evudde ku  Chris Johnz abamu gwe bamanyi nga Luwero Sojah okulumiriza Kalifah Aganaga abadde akola nga maneja we nti abadde akuba enjawulo ku ssente ze bamusasula okuyimba.

Leero Chris Johnz afulumiza ekiwandiiko mu butongole ng’asazaamu endagaano gye yakola ne Bad Character ekibiina kya Kalifah Aganaga ekibadde kivunaanyizibwa ku kumutumbula ng’omuyimbi n’okumufunira bizinensi.

Mu kwogera ne Bukedde agambye nti abadde tayinza kugumikiriza Kalifah amaze ebbanga ng’amubba ssente era yaamenya dda endagaano gye bakola.

“Oyo Kalifah ssente zange abadde azikwatamu. ab’ebivvulu abampangisa okuyimba basasula nddala naye eno ayanjula nddala kyokka ku ntono ezo zayanjudde kw’ayagala okuggya omugabo gwe nga maneja ne weesanga nga kumpi nyimbidde bwerere.

Ate bwe tudde ku ky’okutumbula ennyimba kino kyo kyamulema. Ebbanga lye mazze naye kumpi nze abadde ateekamu ssente zange ate ye nalemwa n’okutuukiriza omulimu gwe nga maneja kato omuntu ng’ono atalina kya nyamba sikyayinza kukola naye” Chris Johnz bwagasseko.

Kalifah amwambalidde.

Ng’ayankula ku nsonga eno, Kalifah agambye nti ekitabudde Chris Johnz talina waaka, okuyimba akwesibyemu naye nga si muyimbi.

“Kale abantu bazibu. Oyo omusajja mukulu nnyo, tamanyi kuyimba, mufubyeko naye biganye ate kati anenya nze mu kifo kya ye okwenenya.

Bano be bantu bulijjo be twogerako abeesibye ku muziki naye nga si bayimbi. Omulimu gwange nga maneja ngukoze nfubye okumutumbula naye kirabika abantu bbo bagaanye okumusiima obutali buzibu bwange.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sat15 220x290

Abakiise e Mengo batabuse lwa baserikale...

Abakiise e Mengo batabuse lwa baserikale abakuba abantu ba Kabaka

Tup1 220x290

Ebigezo bya S4 bifuluma ku Lwakutaano...

Ebigezo bya S4 bifuluma ku Lwakutaano

Mak1 220x290

Suzan Makula asomedde Bugingo plan...

Suzan Makula asomedde Bugingo plan

Top4 220x290

Teddy alabudde Bugingo

Teddy alabudde Bugingo

Ssengalogo 220x290

Ageemugga bagaggya wa?

Ssenga sirina mazzi ga kikyala kati omwami wange omukwano gwakendeera.