TOP

Abava ku dduwa batomereganye n’abava okuziika

By Ssennabulya Baagalayina

Added 14th January 2020

MUSAJJAMUKULU n’abafamire ye baasimatukidde watono okutokomokera mu kabenje oluvannyuma lwa ‘Coaster’ mwe baabadde batambulidde bwe yatomeraganye ne takisi zombi ne zeesolessa mu mugga.

Duwa1 703x422

Emu ku mmotoka ng’eri mu mugga mwe yagudde.

Bya SSENNABULYA BAAGALAYINA
 
MUSAJJAMUKULU n’abafamire ye baasimatukidde watono okutokomokera mu kabenje oluvannyuma lwa ‘Coaster’ mwe baabadde batambulidde bwe yatomeraganye ne takisi zombi ne zeesolessa mu mugga.
 
Hajji Twaha Ssebambulidde ow’omu Kampala ne famire ye omuli n’abazzukulu yagenze nabo mu kyalo Butega mu Bukomansimbi mu maka ga Hajji Muhamoood Sserunkuuma okulomba dduwa kyokka mu kudda ne bagwa ku kabenje.
 
Ebyembi ne takisi gye baatomeraganye nayo yabadde ejja bantu kuziika e Ssembabule ng’evugibwa Lawrence Nswa ow’e Kitintale ng’alumiriza owa Coaster okumutomera emabega.
 
Mu kusooka waabaddewo akasattiro nga muzeeyi Ssebambulidde n’abafamire okuli Sheikh Muhamood Bbosa ow’e Kitemu banoonya abamu ku baana be baabadde nabo nga tebalaba.
 
Muzeeyi Ssebambulidde ne Hajjati we babuutikiddwa ensisi nga bakira bakaabira abazzukulu baabwe be bataategedde nti baataasiddwa ne batakafiiramu.
 ajji sebambulidde ngasobeddwa Hajji Ssebambulidde ng’asobeddwa.

 

Mmotoka zino olwetomedde zaavudde ku kkubo ne zeesolessa mu mugga egikutulira mu Lwera wabula ne ziyambibwa nnakasagi n’ebiddo ebirala ebyazikutte ne zitaggwerayo mu mazzi.
 
Abaabadde mu Coaster omusango baagutadde ku wa takisi nti yasibye mangu ekyaleetedde owaabwe okumutomera emabega ekyawakanyiziddwa ddereeva Nswa ng’alumiriza owa Coaster okudduka ennyo.
 
Abasaabaze abalala omusango baagutadde ku nkola embi eya bayinginiya ba UNRA olw’okukola obubi oluguudo luno ne lufiira mu kaseera akatono ate ne batassaawo kapande konna kalambika ba bidduka.
 
Ekyewuunyisizza abantu ye kasiringi eyasoose okuleetebwa Poliisi ate okufiira mu kifo kyennyini ng’etandika okusikayo Coaster wadde nga bannyiniyo baagezezzaako okugikanika kyokka n’erema ne bagisikawo n’endala.
 
Akulira Poliisi y’ebidduka mu Kalungu, ASP Victor Tumwebaze yakakasizza nti okuggyako abaafunye ebisago ne baddusibwa mu malwaliro ag’enjawulo ekirungi tewali yakafiiriddemu. Mmotoka zonna zannyuluddwamu ne zitwalibwa ku Poliisi e Lukaya we zikuumirwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mak1 220x290

Suzan Makula asomedde Bugingo plan...

Suzan Makula asomedde Bugingo plan

Top4 220x290

Teddy alabudde Bugingo

Teddy alabudde Bugingo

Ssengalogo 220x290

Ageemugga bagaggya wa?

Ssenga sirina mazzi ga kikyala kati omwami wange omukwano gwakendeera.

Kalende1 220x290

Omusaayi guyiyeeyo Rev. Ronald...

REV. Kalende yasoose kwekyusa ng’agamba nti bwe yagenze mu ofiisi ya Minisita Nakiwala Kiyingi, baamukase okukkiriza...

Seb12 220x290

Ssebalamu akoledde muwala we akabaga...

Ssebalamu akoledde muwala we akabaga k'okumala okusoma n'amukubiriza okubeera nga Ham