TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssemaka olufudde muganda we n'agabana ekibanja kye

Ssemaka olufudde muganda we n'agabana ekibanja kye

By Saul Wokulira

Added 15th January 2020

Nnamukadde amaaso gamumyuse aboobuyinza bwe baamukunyizza olw'okwegabanya ekibanja n'aleka nnamwandu ne bamulekwa mu maziga.

Lubeganempaanyizebaamukuuzisizzamukibanjakyannamwandukyeyabaddeyegabanyizzaekifsaulwokulira 703x422

Lubega n'empaanyi ze baamukuuzisizza mu kibanja kya nnamwandu kye yabadde yeegabanyizz

   Nnamukadde amaaso gamumyuse aboobuyinza bwe baamukunyizza olw'okwegabanya ekibanja n'aleka nnamwandu ne bamulekwa mu maziga.

      Bino byabadde ku kyalo Kisawo mu Kayunga Town Kanso mu disitulikiti y'e Kayunga.

  John Lubega ye yatuuyanye nga bwe zikala, ofiisa alondoola ebintu by'abafu e Kayunga, Collins  Kafeero bwe yabadde amusoya kajojijoji w'ebibuuzo ku kwegabanya ekibanja kya muganda we, Godfrey Luwunge eyafudde mu bikujjuko by'okuyingira omwaka omupya.

 Lubega olwamaze okuziika muganda we yatandikiddewo okunoonya abagula ekibanja era yagenze n'akisalasalamu n'empaanyi ne yeegabirako ekitundu n'abaana be, abamu ku baana b'omugenzi baaviiriddemu awo.

Oluvannyuma yalagidde Nabukeera okufulumya engugu n'abaana abataafunye nti abatwale kubanga tebafaanana mugenzi era balabika ssi baana be.

 Nnamwandu Nabukeera yadduse mu ofiisi ya Kafeero eyagenze ku kyalo ensonga ne bazituulamu era okukkakkana nga Lubega yeetondedde nnamwandu n'empaanyi ze yabadde asimbye ng’agabanya ekibanja n'azikuulayo. Oluvannyuma Lubega yalinnye pikipiki ye ne banne ne beeyongerayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....