TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Olutalo nga KCCA egoba abafumbira emmere mu ppaaka enkadde

Olutalo nga KCCA egoba abafumbira emmere mu ppaaka enkadde

By Eria Luyimbazi

Added 15th January 2020

Baagenze okutuuka mu kifo kino, baasanze abakyala abakeera okufumba ekyenkya batandise okugabula bakasitoma baabwe ne babawambako ssigiri, emmeeza n’ebibookisi kwe babadde batundira. Abasuubuzi baagambye nti poliisi teyasoose kubalabula era baafiirwa ebintu byabwe bing.

Webpaa 703x422

Tolina gy'obitwala: Omuvubuka eyakwatiddwa ng'abba ebintu by'abasuubuzi, baamukubye ne babimusuuza.

EKITONGOLE kya KCCA kigobye ababadde bafumbira emmere mu ppaaka enkadde n’okutunda ebintu nga bagamba nti babadde bakikola mu bukyamu.
 
Abaserikale ba KCCA nga bali ne poliisi ku Lwokubiri baakedde kumenya ebimeeza abantu kwe babadde batundira ebintu n’okuwanulayo weema ezibadde zikola ng’ebirabo by’emmere.
 
 mukazi ngataasa ebintu bye okwonoonebwa aba  abaazinzeeko ekifo wabadde akolera mu ppaaka enkadde Omukazi ng'ataasa ebintu bye okwonoonebwa aba KCCA abaazinzeeko ekifo w'abadde akolera mu ppaaka enkadde.

 

 
Baagambye nti bwe baabadde babagoba baabategeezezza nga ssigiri bwe ziyittiridde mu ppaaka kye baagambye nti kyabulabe. Kyokka baakukkulumidde KCCA okubagoba ng’ate baasasula layisinsi ebakkiriza okukolera mu kifo kino.
 
John Paul Agaba okuva mu ofiisi y’omwogezi wa KCCA yagambye nti baasazeewo okugoba abafumba emmere oluvannyuma lw’oku kizuula nti okufumbira mu kifo kino kyabulabe kuba kiyinza okuvaako akabenje.
 
Yagambye nti ppaaka erimu emmotoka ezikozesa amafuta nga kiba kyabulabe okuliraana omuliro kwe kusalawo okubagoba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.