TOP
  • Home
  • Diaspora
  • Bannayuganda ababeera e Canada bategese 'Uganda Kwekwaffe'

Bannayuganda ababeera e Canada bategese 'Uganda Kwekwaffe'

By Benjamin Ssebaggala

Added 16th January 2020

BANNAYUGANDA abali e Canada bongedde amaanyi mu kaweefube okwagazisa bannaabwe ebikolebwa e Uganda n’okubategeeza nti bw’okomawo eka bisoboka.

Grad 703x422

Kasim Ssali ssentebe wa Uganda Culture in diaspora omutegesi w’olukung’aana luno

Kino bakikoze okuyita mu kutegeka olukung’aana lwe batuuma Uganda Kwe kwaffe. Olugenda okubeera mu kibuga Edmonton e Canada.

Kasim Ssali ssentebe wa Uganda Culture in diaspora omutegesi w’olukung’aana luno asinzidde ku ofiisi zaabwe ku MM Plaza mu Kampala n’ategeeza nti omwaka guno lugenda kubeera lwa mulundi gwakusatu.

Ssali agamba nti ye abadde e Toronto Canada okumala emyaka 12 ne Toronto emyaka 7 n’akizuula nti Bannayuganda bangi abali ebweru ng’abamu batya okudda eka wabula bwe babatwalira abantu abasobola okwogera gye bali, basobola okukyusa endowooza.

Abamu babeerayo nga paasipooti ziweddeko kyokka nga tebasobola kudda waka kuzizza buggya kyokka ng’abakugu abasobola okukikola babeera nabo naye nga tebakimanyi.

Omulundi guno bayise sipiika Rebecca Kadaga ye Mugenyi omukulu ate sipiika wa East Africa Martin Ngoga ye mwogezi omukulu.

Omubaka wa Uganda e Canada Alice Ochenge gwe bayise okuluggulawo era ayogerezeganye n’abantu okubannyonnyola ku bye balina okukola.

 

Okusomesa Bannayuganda abali eno ku bintu eby’enjawulo ng’okufuna obutuuze obw’emirundi ebiri. Kino kikolebwa okuyita mu kwolesa obuwangwa, okulaga eby’obulambuzi.

Harunah Mubiru ne Halima Namakula beebayitiddwa okusanyusa abantu era Ssali agamba nti okusanyusa abantu limu ku kkubo mwe bayita okubakung’aanya nga bwe basooka okukung’aaniranga ku lyato.

Ebyobuwangwa bayise Madru Serwadde owa BUCADEF ne Moses Katende annyonnyole abali ebweru ku mbeera y’okutandika emirimu.

Okwogera ku mbeera y’ebyobufuzi bayise Ababaka ba palamenti okuli Muhammed Nsereko (Kampala Central) ne Ibrahim Kasosi sentebe w’akakiiko ka COSASE mu palamenti babeeyungeko ku lwa April 10 ne 11 balambike ensonga.

Ssali agamba nti ye sentebe w’ekibiina kya Uganda Culture in diaspora era mufumbo alina omukyala n’abaana nga Bannayuganda abalala abali ebweru.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam