TOP

Gavumenti etandise okubangula abazimbi

By Paddy Bukenya

Added 16th January 2020

GAVUMENTI etandise enteekateeka y’okubangula abazimbi abatalina buyigirize esobole okukendeeza ku bbula ly’emirimu mu ggwanga n’okwewala abazimbi b’ekiboggwe.

Katongolengaasunsulaabamukubazimbiabatalinabiwandiikoendoddokammengomumpigi 703x422

Katongole ng’asunsula mu bamu ku bazimbi abatalina biwandiiko e Ndoddo Kammengo mu disitulikiti y’e Mpigi.

Bya PADDY BUKENYA

GAVUMENTI etandise enteekateeka y’okubangula abazimbi abatalina buyigirize

esobole okukendeeza ku bbula ly’emirimu mu ggwanga n’okwewala abazimbi b’ekiboggwe.

Mu kaweefube w’okulwanyisa ebbula ly’emirimu mu ggwanga, Gavumenti ng’eyita

mu minisitule y’ebyensimbi n’eyebyenjigiriza etandise omulimu guno.

Mu nkola etuumiddwa The Mason Ranking and Certification (TMRAC)

gavumenti ng’ eyita mu Maganjo Insititute of Career Education

batandise okusunsula abazimbi abalina obumanyirivu mu kuzimba kyokka

nga tebalina mpapula za buyigirize oluvannyuma babawe empapula

z’obuyigirize n’okwongera okubawa obukugu obubabulamu.

 

Akulira enteekateeka eno, Christopher Ssemanda yategeezezza nti baakusunsulamu

abazimbi 700 okwetooloola eggwanga lyonna era nga batandikidde mu

disitulikiti y’e Mpigi n’okusunsula abazimbi 120 oluvanyuma bagende

e Wakiso ne mu Kampala.

 

Ssemanda yategeezezza nti enteekateeka eno egendereddwaamu kulwanyisa bbula

Lya mirimu era abazimbi abasunsuddwa baakutekebwa ku lulala lw’abakozi

abakugu kibanguyire okufuna emirimu mu kkampuni ez’enjawulo.

 Yasiimye gavumenti n’ekitongole kya Private Sector Foundation Uganda

Olw’okuvujjirira enteekateeka eno nga bayita mu Bbanka Yensi yonna.

 

Omuwandiisi wentekateka eno Katongole agambye nti okufuna abazimbi

bano bayita mu kibiina ekibagatta ekya MCAU era baakutalaaga eggwanga

lyonna mu bbanga lya myezi mukaaga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.