TOP

Tekinologiya wa Iran asannyalazza Amerika

By Musasi wa Bukedde

Added 17th January 2020

TRUMP yabadde takisuubira nti Iran erina tekinologiya asobola okusannyalaza ennyonyi za America! Kyamukubye wala ng’amagye ga Amerika gamutegeezezza nti ennyonyi musanvu ezeevuga zokka zicankalanyiziddwa nga ziri mu bwengula nga tezikyasobola kudda ku nkambi y’Abamerika.

War1 703x422

Drone ekika kya MQ - 1C Gray Eagle ezaabuze ku Bamerika oluvaannyuma lw’okukubwa mizayiro za Iran. Buli drone yabaddeko mizayiro ez’amaanyi nnya ekika kya Hellfire wansi nga bwe zifaanana.

TEHRAN, Iran

TRUMP yabadde takisuubira nti Iran erina tekinologiya asobola okusannyalaza ennyonyi za America! Kyamukubye wala ng’amagye ga Amerika gamutegeezezza nti ennyonyi musanvu ezeevuga zokka zicankalanyiziddwa nga ziri mu bwengula nga tezikyasobola kudda ku nkambi y’Abamerika.

Amaanyi Iran yagaggye ku tekinologiya omupya gwe yasabuukuludde ku nkomerero y’omwaka oguwedde, kyokka Amerika ne banywanyi baayo okuli Bungereza, Bufaransa ne Germany ne batasooka kutegeera maanyi ga tekinologiya oyo.

Tekinologiya ono gwe baakozesezza okuketta mu nkambi ya Amerika e Iraq eya Ain al-Asad Airbase era enkambi eno Iran gye yakubyeko mizayiro wiiki ewedde.

 Pulezidenti wa Iran Hassan Rouhani okwogeza amaanyi ng’alaalika amagye ga Amerika okwamuka amawanga ga Buwalabu, kigambibwa nti embavu yaziggye ku tekinogiya ono eyatandikiddewo edda okusattiza Donald Trump.

Mu kulaalika amagye ga Amerika agali mu nkambi ezaateekebwa mu kyondo kya Buwalabu, Rouhani yayogezza amaanyi g’atayogezangako mu byafaayo by’obukulembeze bwe era nga kigambibwa nti amaanyi yagafunye lwa tekinologiya ono eyatandise dda okukola “ebyamagero”.

Rouhani yagambye nti kiyamba Amerika okuggyayo amagye gaayo mu nkambi zonna Abamerika ze baateeka mu nsi za Buwalabu naddala e Iraq, n’agattako nti tewabaawo Mumerika yenna agamba nti tebaalabulwa ku biyinza okuddirira singa tebaggyaayo magye gaabwe.

Iran yasoose okukozesa tekinologiya ono ng’erumba enkambi ya Amerika eya Ain al-Asad Airbase. Tekinologiya ono akyali omupya, asannyalaza ennyonyi ennwaanyi eziba mu bwengula, olwo ne bakola olulumba ng’omulabe bamaze okumusannyalaza.

Ennumba zino zaatandise ku saawa 7:35 wabula mu kiseera ekyo, Amerika yabadde esindise ennyonyi zaayo enkessi ezeevuga zokka ez’ekika kya MQ-1C Gray Eagles era zaabadde mu bwengula.

 yatollah hamenei ne oleimani ku ddyo eyavuddeko embeera eriwo Ayatollah Khamenei ne Soleimani (ku ddyo) eyavuddeko embeera eriwo.

 Tekinologiya wa Iran, y’omu ono agwa mu ttuluba lya Marine Air Defense Integrated System (MADIS), akola omulimu omulala ogw’okusannyalaza ennyonyi eziba zisindikiddwa okukola obulumbaganyi era ne ku mulundi guno kye yakoze n’asannyalaza ennyonyi za Amerika musanvu.

Bamuyunga ku bikompola bye bakuba mu bbanga ennyonyi ze baba baagala okusannyalaza we ziba zirabiddwa era amangu ago ennyonyi nga zitandikirawo okubutaabutanira mu bwengula. Tekinologiya ono akuba ekizikiza mu bwengula wonna ne wakwata enzikiza, ennyonyi nne zibulwa we zidda. Ennyonyi za Amerika zaamaze essaawa 4 nga ziri mu bwengula zicankalanye era kaweefube yabadde wa maanyi okuzitaasa.

ENGERI AMERIKA GYE YALWANYE OKUTAASA ENNYONYI ZAAYO

Amerika ng’ekozesa ekitongole kyayo ekikessi wamu ne banywanyi baayo aba Israel, baabadde bafunye ku mawulire nti Iran erina akatiisa k’etegeka okukolawo era ne baddira abajaasi 1,500 abaabadde mu nkambi ne bayingira wansi mu mpuku mizayiro gye zaabadde tezisobola kutuuka.

Abakugu bana abaabadde mu busenge obugumu ennyo era obuziyivu embeera yabatabuseeko nga balaba tebakyasobola kulondoola nnyonyi ze baabadde bavugira ku kompyuta, wabula ekizikiza ne kikwata wonna. Amerika bwe yafunye amawulire nti Iran etegeka okubalumba ne balowooza nti egenda kuyita ku ttaka.

Baasindise ennyonyi zino mu bbanga okulondoola embeera, okuketta nga bwe zikuba ebifaananyi nga zikozesa “seetirayiti” okuweereza ebifaananyi ku kitebe ky’amagye mu Amerika (Pentagon).

Wabula Iran yabadde emaze okukozesa tekinologita waayo omupya n’esannyalaza ebimu ku byuma bya Amerika olwo n’ekuba mizayiro nga zookya ebifo ne waya engumu ennyo ze baakozesa okuyunga ebyuma bya Amerika ne banywanyi baayo ku mirongooti egiyunga ennyonyi ku nkambi mu kifo we bazirondoolera.

Bino byonna okutuuka okuvaayo, Sergeant Costin Herwig 26, omu ku bagoba b’ennyonyi abaabadde ku “misoni”, yabadde alojja nga bwe yasimattuse amagombe kubanga yategeezezza nti ekizikiza bwe kyakutte wonna n’awulira okubwatuka okw’amaanyi okwamaze essaawa ssatu nnamba n’awanika ng’amanyi nti obubwe bwabadde bukomye.

 Yagambye nti waabaddewo okubwatuka era okubwatuka okwasoose kwakubye wonna era kwabuutikidde wonna n’enfuufu n’ekwata wonna ne baziyira nga balowooza oba oli awo baabadde babakubyemu omukka ogw’obutwa.

Okusinziira ku Herwig nga bwe yategeezezza omukutu gwa AFP, yagenze okuwulira ng’okubwatuka okwabadde kwesudde ekifo we bali ebyazzeeko nga bibwatukira ku kifo kyennyini we baabadde n’asaba essaawa esembayo kyokka ne basimattuka.

Bino byonna Iran ebikola okwesasuza olwa Amerika eyakoze obulumbaganyi ku Baghdad International Airport nga January 3, 2020 n’etta Genero wa Iran Qasem Soleimani. Aba Iran baayanukul nti lino lye batayinza kugumiikiriza be balaalika okwesasuza.

Tekinologiya ono bamwolekezza butereevu ku kifo abaserikale we babadde basula ekiriraanye ekifo abagoba b’ennyonyi we baabadde bakolera emirimu gyabwe (pilots' operations rooms). Herwig yeemuludde okwekweka mu kifo ekirala n’alaba eddiiro nga lituntumuka lyokya waya zonna eziyunga ekifo mwe bakolera ku mirongooti.

Amerika yayise mu Katikkiro wa Bungereza Boris Johnson n’aleeta ekiteeso ng’ayagala Iran eddemu eteese ne Amerika ku ndagaano ya nukiriya Obama gye yaleka akoze wabula Trump n’agisazaamu. Iran yabaanukudde nti eppeesa baanyize ffu tekyalina kyeyagala kuteesa.

Trump bwe yamaze okwetegereza tekinologiya ono, n’alagira baweerezeeyo ennyonyi ez’omutawaana ezitamala gakubwa. Ennyonyi ze yalagidde okusindika e Iraq awali ensiitaano, okumala essaawa 27 ng’eri mu bwengula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu