TOP

Famire ya Ssebulime ekukkuluma

By Musasi wa Bukedde

Added 17th January 2020

FAMIRE y’omugenzi Ronald Ssebulime eyakubwa poliisi amasasi ng’ateeberezebwa okuba mu lukwe lw’okwagala okutta Idah Erios Nantaba, ekukkulumidde Frank Gashumba n’abantu abalala olw’okusuubiza okuweerera bamulekwa kyokka ne batatuukiriza.

Sebulime1 703x422

Ssebulime

Bya GERALD KIKULWE

FAMIRE y’omugenzi Ronald  Ssebulime eyakubwa poliisi amasasi ng’ateeberezebwa okuba mu lukwe lw’okwagala okutta Idah Erios Nantaba, ekukkulumidde Frank Gashumba n’abantu abalala olw’okusuubiza okuweerera bamulekwa kyokka ne batatuukiriza.

Ssebulime yakubwa omuserikale Cpl. David Ssali mu March w’omwaka oguwedde
e Nagojje mu disitulikiti y’e Mukono.

Mu kuziika, abantu bangi beeyama okuweerera abaana b’omugenzi n’okuyambako
bannamwandu wabula bino byonna byakoma mu bigambo ekyongedde okwennyamiza
aba famire ya Ssebulime.

Irene Nakazibwe mwannyina w’omugenzi Ssebulime yagambye, “kyennyamiza okulaba nti omuntu nga Gashumba asuubiza n’atatuukiriza.

Mu bonna omukyala omu Juliet Zawedde abeera mu America y’atuukirizza,” Nakazibwe bwe yeemulugunyizza.

Gashumba yeerwanyeeko nti, “kituufu neeyama okuweerera omwana wa Ssebulime
asembayo obuto, Esther Nakayita naye famire eyo tekolaganika nayo. Ennamba
z’essimu bampa nfu, ne gye yali asomera baamuggyako. Mbasaba bannoonyeeko.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu