TOP
  • Home
  • Amawulire
  • ‘Muggya wange apangisizza abasajja ne bankuba’

‘Muggya wange apangisizza abasajja ne bankuba’

By Musasi wa Bukedde

Added 17th January 2020

AMALOBOOZI g’enkoko ezikookolima ge gaamuyambye okwewalula okuva mu kibira kya Mabira wakati okutuuka ku bantu abaamuwadde obuyambi. Baagenze okumutuukako ng’ali mu bulumi obw’ekitalo, yenna akikijjana, asituka bw’addawo kyokka ng’ali bwereere! Byabaddewo ku Mmande.

Saba 703x422

Namusisi ne muwala we Nakalembe

Immaculate Nakalembe, omutuuze ku kyalo Bukaayo, mu disitulikiti y’e Buvuma alumiriza muggya we okupangisa abasajja basatu bamukube era nti olwamaze okumutuusaako obulabe mu Mabira, ne badduka.

Ssentebe w’ekyalo Nkaaga, mu muluka gw’e Buwoola - Najjembe, mu disitulikiti y’e Buikwe, Daniel Ssemakula Katende yategeezezza nti Nakalembe yasoose kulabibwa omutuuze Kibirango n’amwekanga ng’alaba ali bukunya. “Omutuuze omukyala yayanguye n’amufunira engoye n’amwambaza.

Baayise poliisi eyamututte mu ddwaaliro e Kawolo,” Katende bwe yategeezezza. Eby’okuwambibwa ne bamutulugunyiza mu Mabira, Nakalembe yabyogedde azze engulu.

Yagambye nti, “abasajja basatu nga bali ku boodabooda bantaayizza nga nva okukyalira baze Jonathan Kizza, omujaasi wa UPDF, akolera e Bujagaali mu disitulikiti y’e Jinja. Nnina muggya wange abeera e Jinja era ono aludde 

ng’ankubira essimu ng’andaalika okunkolako bwe simulekera musajja. Enkinkakasa nti muggya wange ye yabadde emabega wa bino byonna, bwe nabadde nva ewa baze ku Mmande, mwannyina wa muggya wange kwe kujja n’abasajja abalala babiri ne bansalako mu bitundu by’e Njeru we nabadde nnindira takisi.

Bankubye ne bankwata okukkakkana nga bantuusizza mu Mabira. Mwannyina wa muggya 

wange yambuuzizza nti, “Gwe tokimanyi nti omusajja gw’obadde naye alina mukazi we? Lwaki tomwesonyiwa?” Nakalembe yagasseeko nti ekyaddiridde kumwabulamu ngoye ne bongera okumukuba kyokka nga ne bw’alaajana teri ajja kumutaasa.

Yazirise era teyategedde basajja gye baabulidde. Okudda engulu nga yenna omubiri gumuluma, aliko enkwagulo. Poliisi y’omu Mabira ensonga 

yazongeddeyo ku Poliisi enkulu etwala ekitundu kino e Lugazi era ne baggulawo omusango gw’okugezaako okuwamba omuntu n’okumulumya ku fayiro nnamba SD:49/15/01/2020.

Maama wa Nakalembe, eyamusanze mu ddwaaliro ly’e Kawolo, Jessica Namusisi, olwalabye ku muwala we n’ayoza ku mmunye.

Yategeezezza nti babadde bamaze ennaku ssatu nga banoonya muwala we. Nakalembe ajjanjabibwa mu ddwaaliro e Kawolo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu

Employed 220x290

Akwana abawala n'ababba poliisi...

POLIISI ekutte omusajja agenda mu bbaala n’ebifo ebirala ebisanyukirwamu n’akwana abawala n’ababbako ebintu byabwe....

Sit51 220x290

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja...

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja kya University League