TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obunkenke e Namirembe nga Reverand Kalende akuba embaga

Obunkenke e Namirembe nga Reverand Kalende akuba embaga

By Musasi wa Bukedde

Added 17th January 2020

Abooluganda n’emikwano gya bagole ababadde mu lutikko baasirikiridde buli omu nga bwatunuulira munne okutuusa Rev. Mayanja bwe yatandise omukolo gw’okugatta abagole enduulu n’esaanikira lutikko y’Omutukuvu Paul e Namirembe ku Lutikko.

Kalendeweds1 703x422

Ba Kalende oluvannyuma lw'okugattibwa e Namirembe.

Bya MUSASI WAFFE

 “Waliwo alina ensonga erobera ababiri bano okugattibwa mu bufumbo obutukuvu? Bwaba taliiwo asirikiranga ddala emirembe n’emirembe” bwe yabuuzizza.

Abooluganda n’emikwano gya bagole ababadde mu lutikko baasirikiridde buli omu nga bwatunuulira munne okutuusa Rev. Mayanja bwe yatandise omukolo gw’okugatta abagole enduulu n’esaanikira lutikko y’Omutukuvu Paul e Namirembe ku Lutikko.

byokwerinda bibadde gguluggulu ku utikko e amirembeEbyokwerinda bibadde gguluggulu ku Lutikko e Namirembe.

 


Bino byabadde ku mbaga ya Rev. Ronald Yobu Kalenda ne Ssanyu Erusah Namuyige mu lutikko e Namirembe, era ng’embeera ebadde ya bunkenke ddala.

Bano baagattiddwa Rev Erisa Mayanja ow’e Kasubi era ono nga tanabagatta yasoose kubuuza oba waliwo alina ensonga erobera ababiri okufumbiriganwa nga tannaba kugatta bagole.

Akaseera k'okuteeka emikono ku satifikeeti y'abagole, entambi z'omu Lutikko abantu kwe bagobererera ebigenda mu maaso ziggyiddwaako era abantu tebalabye baani abateereddeko abagole emikono. Olivia Muwonge yabadde matron ate BestMan abadde Rev. Andres Ruiz Caro Goga.

 mukazi owa kkamera ngagezaako okusonga mu bannamawulire babagobaganye Omukazi owa kkamera (ku kkono mu gomesi) ng'agezaako okdduumira banne bakube bannamawulire baffe.

 

Okufaanako n’embeera eyali mu kwanjula ku miryango egiyingira lutikko kwabaddeko abaserikale era nga tebakiriza kkamera yonna kukwata bifaananyi okuggyako ebbiri entongole ezaabadde zatabulidde ku bagole.

Gye buvuddeko Rev. Kalende yafunye obuzibu omuwala Perusi Nabirye  bwe yavuddeyo n’amulumiriza nga bwe yamuzaalamu omwana n’agaana okumuwa obuyambi. Kyokka bino Kalende yabyegaana n’alumiriza mukwano gwe nfa nfe Rev. Julius Matovu ow’e Jjungo okubeera kitaawe w’omwana ono.

 mukazi ono bakira asonga mu bannamawulire baffe ngaduumira babakube Omukazi ono bakira asonga mu bannamawulire baffe ng'aduumira babakube.

 



 Embeera eno yawaliriza Nabirye okuddukira ewa minisita w’abaana ‘nabavubuka,  Florence Nakiwala Kiyingi eyayita abaawule bombi ne Nabirye n’abatuuza era oluvannyuma Kalende yakkiriza nti omwana wuwe n’akiriza n’okumulabirira.

Bano oluvannyuma baasembeza abagenyi baabwe ku ssomero lya Mengo SSS.

 

 Omukazi n'akapanka eyakubidde ebifaananyi mu gomesi ng'agezaako okuduumira bakube bannamawulire abaabadde basaka amawulire g'embaga eno.

 

Ebirala ku bagole bano;

Obwenzi mu kkanisa!! Abaawule b’e Namirembe 2 battunka lwa muwala
Yeewuunya engeri omuwala bwe yamezze abaawule babiri

 



 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu

Employed 220x290

Akwana abawala n'ababba poliisi...

POLIISI ekutte omusajja agenda mu bbaala n’ebifo ebirala ebisanyukirwamu n’akwana abawala n’ababbako ebintu byabwe....

Sit51 220x290

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja...

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja kya University League

Kubayo 220x290

‘Bobi teyeewandiisanga kuvuganya...

WADDE ng’akakiiko k’ebyokulonda ke kakkiriza omubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) okwebuuza...

Un 220x290

Abooluganda lwa Nabukenya owa Poeple...

OMUBAKA wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, asinzidde mu kuziika, Ritah Nabukenya...