TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi y'abaana n'abafumbo esomeseddwa obukodyo okulwanyisa obusambattuko mu maka

Poliisi y'abaana n'abafumbo esomeseddwa obukodyo okulwanyisa obusambattuko mu maka

By Musasi wa Bukedde

Added 19th January 2020

Poliisi y'abaana n'abafumbo esomeseddwa obukodyo okulwanyisa obusambattuko mu maka

Pop1 703x422

Bya James Magala

ABASIRIKALE mu kitongole kya Poliisi ekivunaanyizibwa ku nsonga z’amaka  n'abaana basomeseddwa ku mateeka agafuga  abafumbo ne bakubirizibwa ku kuba  abasaale mu kulwanyisa  obutabanguko obweyongedde ennyo mu maka ensangi zino.

Bano okuva mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo bamaze ennaku 5 ku kitebe kya Munisipaali y’e Nakawa nga babangulwa mu mateeka ag’enjawulo mwebayinza okuyita okutabaganya abafumbo ababa basoowaganye kiyambeko mu kulwanyisa obutabanguko mu maka.

Akolanga Kamisona avunaanyizibwa ku nsonga z’amaka n’abaana ku kitebe kya Poliisi e Nagguru,Marion Kutusa,mu kusiibula abasirikale abetabye mu musomo guno,yabawadde satifiketi n’abakuutira okukola ennyo okulabanga balwanyisa obutabanguko mu maka mu bitundu byabwe.

Kutusa,yawadde abasirikale amagezi okussawo enkolagana ennungi n’abatuuze mu bitundu eyo gyebali kibayambe okufuna amawulire gabayambe okugonjoola ensonga z’abafumbo nga tezinnaba kusajjuka.

Ono mu ngeri y’emu era akubirizza abasirikale okussa essira ku kulwanyisa omuze gw’abaana abakabasanyizibwa n’abawa amagezi okusomesa abantu okukwatanga abaana baabwe obulungi ku lw’ebiseera bya Uganda ey’omumaaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...