TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyali omubaka wa Lwengo mu palamenti Getrude Nakabira afudde

Eyali omubaka wa Lwengo mu palamenti Getrude Nakabira afudde

By Ssennabulya Baagalayina

Added 19th January 2020

Eyali omubaka wa Lwengo mu palamenti Getrude Nakabira afudde

Kot1 703x422

Eyali omubaka w'e Lwengo Getrude Nakabira nga bw'abadde afaanana

BANNAMASAKA n'okusinga Banna NRM ne Bannabyanjigiriza babuutikiddwa ekyekango olw'okufa kw'eyaliko omubaka omukazi owa disitulikiti ye Lwengo mu Palamenti Hon Gertrude Nnakabira Lubega.
 
Okusinziira kw'eyaliko omubaka omukazi owa disitulikiti ye Kalungu Florence Kintu ategeezezza nti Hon Nnakabira afiiridde mu ddwaliiro e Nsambya.
 
Agasseeko nti omugenzi aludde ng'atawanyizibwa obulwadde bwa Kansa.
 
Akulira eby'enjigiriza e Kalungu ng'azaalibwa Kinoni mu Lwengo David Bbaale Mukasa agasseko nti Nakabira ng'oggyeko okuba munnabyabufuzi ate abadde Munnabyanjigiriza era omuwagizi wa NRM n'eddiini ye ey'Obukatoliki.
 
Agambye nti Nakabira y'akulirako ebyenjigiriza mu disitulikiti ye Ssembabule gye yava okwesogga eby'obufuzi n'awangula eky'omubaka omukazi owa Lwengo gye yakiika ekisanja kimu.
 
DEO Bbaale ayongerako nti Nnakabira w'afiiridde nga ye nnannyini ssomero lya Emmanuel Junior Academy e Kinoni lye baatandika ne bba Chief Emmanuel Lubega.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.