TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obadde okimanyi nti butto w’ensigo z’amapaapaali akola ku maaso ne kookolo ? Soma wano mu mboozi z'omukenkufu

Obadde okimanyi nti butto w’ensigo z’amapaapaali akola ku maaso ne kookolo ? Soma wano mu mboozi z'omukenkufu

By Musasi wa Bukedde

Added 19th January 2020

Obadde okimanyi nti butto w’ensigo z’amapaapaali akola ku maaso ne kookolo ? Soma wano mu mboozi z'omukenkufu

Top11 703x422

Obusigo bw’amapaapaali nga bwe bufaanana

AMAPAAPAALI buli omu agamanyi era gawoomera bangi okulya, ennaku zino bagatambuza ne ku bigaali ne gatuuka ku buli muntu ate abakola mu ofiisi bye bimu ku bibala bye basiiba balya.

Abamu bakoma ku kugalya ne gabawoomera naye bw’obabuuza emigaso gyago batono abagimanyi. Ate abagalya bakoma ku kibala ne beerabira nti, ensigo osobola okuzikolamu butto.

Omunoonyereza Christopher Columbus yalituuma ‘malayika w’oku nsi’ kubanga mu bibala bye yazuula yaliraba nga lya njawulo. Mu ssaayansi baliyita ‘Karika pawpaw’ era wano we wava erinnya lyago egganzi erya ‘pawpaw’. Naye obusigo obwo bw’osuula ka nkulage emigaso gyabwo ssinga obeera obukamuddemu butto.

EMIGASO GYA BUTTO 1 Butto ono, ayamba okugonza ennyama. Waliwo ensobi ekolebwa abatambuza ente abazitulugunya ne kizireetera okusiba ennyama, kati abantu bagenda okugirya nga yakapye n’ebasiba embuto. Kyokka bw’onywa butto ono akuyamba okugonza olubuto.

Era ayamba omuntu obutafuna mmeeme eya wansi. Obuteesiba lubuto omuteeka ku mazzi agabuguma, era abantu abatalya mmere erimu kiriisa ekizimba omubiri tebasobola kubikubaakuba ky’ova owulira nti, gundi tanywa mata, talya nnyama n’ebirala, naye butto w’amapaapaali amalawo embeera eno.

2 Alimu ekirungo ekyoza omusaayi ate alimu ne Vitamiini C, ayamba okukuuma omubiri nga tegulwalalwala ne bw’oba tolidde ppaapaali lyennyini.

3 Abantu abalina amasavu mu misuwa abakolera bulungi, kino kikuuma omutima nga mulamu.

4 Butto ono era ayamba okutangira kookolo w’ekyenda, kubanga bw’aggyawo olubuto okwesiba n’alwoza tewabaawo mmere esobola kwesibira mu kyenda ekiyamba ekyenda obutavundiramu mmere na kusomba ndwadde.

5 Ayamba okugoba enkanyanya n’okugonza enviiri n’okumalawo situka. 6 Akkakkanya akalulwe akazimbye kubanga akooza.

7 Abalumwa amaaso naddala abo abatuula ku kompyuta ekiseera ekiwanvu abakolera n’ababeera ku mataala agaaka ekisusse n’abayamba obutalumwa maaso.

8 Akola ku musujja n’amabwa. Omuntu afumba emmere kirungi n’omuteerawo abantu bo oba bakasitoma ne bamukozesa kuba ajjudde emigaso ntoko.

9 Alimu ekirungo kya ‘Saponins’, kino kitta ebiwuka mu bantu bonna abakulu ne mu bisolo.

Abantu bakaaba ebiwuka naye nga butto w’amapaapaali waali okubataasa. Abaana abato bafuna ebiwuka naddala nga balya ebicaafu ate abakulu olumu balya emmere etayidde, okugeza lumonde atayidde abalwaza enfaana ate ensolo zifuna ebiwuka nga zirya omuddo kwe bibiise amagi.

Ensolo gitabulire amatondo 20 mu luta 20 ez’amazzi ate abantu okozesa amatondo 5 mu kikopo ky’amazzi agabuguma.

Julius Nyanzi owa Prof Bioresearch asangibwa ku Equatorial Mall edduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu...

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu ggiya

Set1 220x290

Museveni awabudde ku nteekateeka...

Museveni awabudde ku nteekateeka y’ettaka eneegaggawaza Bannayuganda

Tip2 220x290

Abbye abaana babiri n’abatwalira...

Abbye abaana babiri n’abatwalira muganzi we

Top2 220x290

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso...

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso e South Africa annyonnyodde

Nem1 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okkozesaamu empirivuma okulongoosa omutima n'okugumya ebinywa...