TOP

Emmotoka esse 8 abazina akadodi

By Musasi wa Bukedde

Added 20th January 2020

ABANTU 8 ababadde bazina akadodi bafiiridde mu kabenje n’abalala ne bagenda n’ebisago ttakisi bwe yabasaabadde nga baddukira ku baakadodi mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga.

Kadodi 703x422

Abatuuze nga bakungubagira bannaabwe.

Bya AMON MUKASA

ABANTU 8 ababadde bazina akadodi bafiiridde mu kabenje n’abalala ne bagenda n’ebisago ttakisi bwe yabasaabadde nga baddukira ku baakadodi mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga.

alt=''

 

Ku bano, abantu 6 nga kuliko abakyala basatu n’abasajja basatu ba ku kyalo kimu ate abalala babiri babadde ba ku kyalo ekikiriraanye. Mmotoka eyabatomedde ng’edda emabega yabadde nnamba UAW 686.

Akabenje kano kaagudde ku kyalo Kateete mu Ggombolola y’e Kasawo e Mukono wakati w’essaawa 2:00 ne 3:00 ez’ekiro. Akadodi mazina ga Bagisu agettanirwa mu bagenda okusalibwa embalu.

Abaafudde kwategeerekeseeko Emmanuel Sekyanzi 28, eyazikiddwa ku Lwomukaaga ku kyalo Kateete, Denis Kibira 15 naye eyaziikiddwa e Kateete, Simon Owori 29, Efulasi Nabuduwa 24, Hadijah Nantongo, Asuman Nsubuga ow’e Bukasa n’omulala eyategeerekeseeko erya Stella 24 nga ono abadde yajja kulya Ssekukulu mu maka ga mulalmu we Aziz e Kateete n’omulala omu ataategeerekese mannya.

Abaalumiziddwa kuliko Abdul Kato eyabadde akulembeddemu abagoma nga kati ali mu ddwaaliro e Nsambya. Ono yayisiddwa bubi okuli okumenyeka oluba n’olulimi okuyulika. Omulala kwabaddeko Bridget Namale.

Lawrence Kalyesubula eyawonye yategeezezza nti ye okusimattuka, ye yasoose okukuba engoma (Akadodi) okutuuka e Namaliri kyokka olw’okuba yabadde aliko omukolo omulala gw’agendako kwe kuzikwasa Abdul Kato ne beeyongeraayo naye n’agenda ku mukolo.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana