TOP
  • Home
  • Amawulire
  • ‘Mukebere nnamba z’essimu okuzuula oba ziri mu mannya gammwe’

‘Mukebere nnamba z’essimu okuzuula oba ziri mu mannya gammwe’

By Musasi wa Bukedde

Added 21st January 2020

AKAKIIKO akavunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu ggwanga aka Uganda Communication Commission (UCC) kalagidde abakozesa essimu okukebera okuzuula oba nnamba z’essimu ze bakozesa zaawandiisibwa mu mannya gaabwe.

Na 703x422

Bbosa ng’ali n’omumyuka w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Polly Namaye.

 
Omwogezi w’akakiiko ka UCC Ibrahim Bbosa yagambye nti w’aliwo nnamba z’essimu bagenti ze baawandiika mu mannya g’abantu nga tebamanyi ne baziguza abamenyi  b’amateeka abazikozesa nga banannyini mannya tebamanyi. “Okuva nga June 1, 2019 essimu ezitali mpandiise zaakusalibwako.
 
Wabula ekizibu ekiriwo waliwo layini ezaawandiisibwa mu mannya g’abantu kyokka nga bannannyini mannya tebamanyi.
 
Kino kyava ku baabawandiika okukozesa densite  ne baggyako ebibakwatako ne basobola okuwandiisa layini endala nga y’ensonga lwaki buli muntu yandibadde akebera okuzuula oba ennamba gy’alina eri mu mannya ge,” Bbosa bwe yagambye.
 
Yagambye nti era waliwo akabinja akagenda kabba ssimu ku bantu ng’ekigendererwa kya kufuna layini ze batunda eri abagakozesa mu bukyamu nga buli layini y’essimu bagitunda 10,000/-.
 
Yategeezezza nti ebiseera ebisinga poliisi bw’ekola okunoonyereza naddala ng’efunye omusango ogwamanyi ekizudde nti layini z’essimu tezaawandisibwa mu mannya g’abantu ababeera bakwatiddwa n’essimu.
 
Amannya ga bannannyini masimu babeera tebali mu bitundu nga n’abalala tebamanyi bigenda mu maaso.
 
Yagambye nti omuntu okukebera okuzuula nti ennamba y’essimu gy’alina yawandiikibwa mu mannya ge annyiga *197# nga asobola okuzuula nnamba ya densite ( NiN number) okulaba oba ddala eri mu mannya amatuufu.
 
Yakubirizza abantu ababbiddwaako ssimu okugenda ku poliisi mu bwangu baggulawo omusango basobole okufuna ebbaluwa ennamba zisobole okusalwako.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...