TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Boofiisa ba poliisi Muhangi ne Anguma kkooti ebayimbudde

Boofiisa ba poliisi Muhangi ne Anguma kkooti ebayimbudde

By Musasi wa Bukedde

Added 21st January 2020

EYALI akulira ekitongole kya Flying Squad, Herbert Muhangi abadde amaze emyaka ebiri mu kkomera ng’avunaanibwa okuwamba bannansi ba Rwanda ayimbuddwa.

Kola 703x422

SCP Jole Aguma ( ku kkono), Kwarisiima (wakati) ne Magada nga bali mu kaguli. Baayimbuddwa eggulo.

Muhangi yasaba kkooti y’amagye emukkirize okweyimirirwa n’awaayo abantu babiri ab’okumusemba okwali akulira abakozi mu poliisi ACP Emmanuel Muhairwe n’omukugu mu kunoonyereza mu poliisi ACP Elvis Byamugisha.

Kkooti yamukkiriza okweyimirira ku bukadde 10 ezitali za buliwo n’abamweyimiridde buli omu ne bamulagira okusasula obukadde 20 nga nazo si za buliwo.

Nga February 19, 2019,  Muhangi yayimbulwa kkooti kyokka yali tannava mu luggya n’addamu n’akwatibwa abajaasi abaali mu ngoye za bulijjo nazzibwa mu nkambi y’amagye eya Military Police gy’abadde akuumirwa ne banne.

Amagye gaategeeza nga bwe waliwo emisango emirala egigenda okumuvunaanibwa kyokka n’okutuusa lwayimbuddwa nga tebannaba kuvunaanwa.

Kino kitegeeza nti akakalu kkooti ke yamuwa kaabadde kakyaliko era kwe yayimbuliddwa.

Eggulo, Muhangi yaleeteddwa ku kkooti y’amagye e Makindye okuva mu miritale era teyatwaliddwa mu kkooti wabula yagenze  ew’omuwandiisi wa kkooti eyamuwaddde ebbaluwa eraga nti akkiriziddwa okweyimirirwa.

Muhangi yakwatibwa n’avunaanibwa wamu ne yali mukama we Gen. Edward Kale Kayihura, Nixon Agasirwe ne boofiisa ba poliisi abalala emisango gy’okuwamba bannansi ba Rwanda okuli Lt. Joel Mutabaazi, Jackson Karemera ne Sgt. Vincent Kaliisa abaali banoonya obubudamu mu Uganda ne babazza e Rwanda nga tebalina lukusa.

Bano era bavunaanibwa okulagajjalira ebyokulwayisa naddala emmundu bwe baaziwa abantu abatalina kubeera nazo nga muno mwe muli ne yali omuyima wa boodabooda 2010 Abdallah Kitatta eyasibwa emyaka 10 lw’okusangibwa n’emmundu mu bukyamu.

Abalala abavunaanibwa ne Muhangi kuliko; Nixon Agasirwe eyali akulira ebikwekweto, Col. Ndahura Atwoki, Abel Tumukunde, Faizal Katende, SSP Joel Aguma, Benon Atwebembeirwe, SSP Richard Ndaboine, ASP Patrick Muramira, AIP Jonas Ayebeza ne D/C Abel Kitagenda. 

AGASIRWE ASIGADDEYO MU KKOMERA BANNE BAYIMBUDDWA

Ku kibinja kya boofiisa bano abavunaanibwa, ebikonge byonna biyimbuddwa nga kati eyali akulira ebikwekweto, mu poliisi SSP Nixon Agasirwe yasigaddeyo.

Kkooti y’amagye yayimbudde eyali akulira akakiiko ka poliissi akakwasisa empisa aka Police  Standards Unit (PSU) SCP Joel Aguma, D/CPL Amon Kwarisiima ne D/ASP James Magada ku kakalu kaayo.

Aguma yaleese abamweyimiridde nga bonna babaka ba Palamenti okwabadde Jimmy Akena, Felix Okoth Obong owa Dokoro South ne Joy Atim owa Lira disitulikiti kkooti be yakkirizza okumweyimirira.

Ono yayimbuddwa ne Amon Kwarisiima ne James Magada nga kkooti yabayimbudde ku kakalu ka bukadde 10 ezitali zaabuliwo nga abaabeeyimiridde buli omu waakusasula obukadde 20 nga  nazo si za buliwo.

Wadde Maj. Samuel Masereje ow’oludda oluwaabi yabadde awakanyizza okusaba kwabwe okweyimirira ng’agamba nti boofiisa bano balina obusobozi obuyinza okutaataaganya okunoonyereza n’abajulizi, looya waabwe Maj. Kamanda Mutungi yagambye nti bano tebayinza kubaako kyonna kye bataataaganya mu musango.

Bwe yabadde asoma ensala ya kkooti ku kusaba kwabwe, ssentebe wa kkooti Lt. Gen. Andrew Gutti yategeezezza nti batunuulidde okusaba kw’enjuyi zombi  ne basalawo abawawaabirwa bayimbulwe.

Yabalagidde okweyanjulanga ew’omuwandiisi wa kkooti buli Lwokusatu lw’oluvannyuma lw’ennaku 14, obutafuluma bitundu bya Kampala ne Wakiso nga tebafunye lukusa lwa kkooti n’okweyanjulanga buli lwe balagiddwa.

Aguma ne Muhangi beegase ku yali muka waabwe Gen. Kayihura, Col Ndahura Atwoki eyali owa Crime Intelligence nga baasooka okuyimbulwa. Kati Nixson Agasirwe ye munene ali ku fayiro eno asigadde mu kkomera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...