TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abadde ayanula engoye z'abatuuze ku waya awonye okuttibwa

Abadde ayanula engoye z'abatuuze ku waya awonye okuttibwa

By Musasi wa Bukedde

Added 21st January 2020

Bonny Tamale omutuuze w'oku Kalerwe Kiggundu Zooni y'asimattuse okuttibwa abatuuze b'e Bwaise oluvannyuma lw’okumusanga lubona ng'ayanula engoye z'omutuuze ku waya.

Bonnyjpgweb 703x422

Abaserikale b'oku poliisi y'oku Kaleerwe nga bataasa Bonny Tamale ku batuuze abaabadde baagala okumugajambula.

Bya ROSEMARY NAKALIRI

BONNY Tamale omutuuze w'oku Kaleerwe Kiggundu Zooni y'asimattuse okuttibwa abatuuze b'e Bwaise oluvannyuma lw’okumusanga lubona ng'ayanula engoye z'omutuuze ku waya.

Ono abatuuze baamusanze abuuse n'ayingira ekikomera ekimu e Bwaise n'atandika okwanula engoye zaabwe ate nga babadde bamaze ebbanga nga bababbira engoye.

Bano olwalabye Tamale kwe kumukubira enduulu eyasombodde abatuuze ne batandika okumukuba era ssentebe w’ekitundu Paul Kibuuka yagenze okutuuka, ng'abatuuze bateekateeka kumukumako muliro. 

Ssentebe Kibuuka yagezezzaako okubakkakkanya naye ne beerema okutuusa poliisi y'e Kalerwe bwe yazze  n'etwala Tamale ku poliisi ng'abatuuze bwe bagiwereekereza amayinja era bwatyo bwe yasimattuse.

Abatuuze bagamba nti Tamale aludde ng'abatigomya nti takoma ku kya kwanula ngoye wabula abayingirira ne mu mayumba n'ababba. 

Poliisi erabudde abantu okukomya okutwalira amateeka mu ngalo era ne basaba nti bwe bakwata omuntu yenna mu bumenyi bw'amateeka bamutwale ku poliisi oluvannyuma atwalibwe mu kkooti amateeka ge gaba gamusalira omusango.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu