TOP

Kkooti egattuludde Judith Babirye ne Ssebulime

By Musasi wa Bukedde

Added 21st January 2020

OMUBAKA Paul Musoke Ssebulime 45, yeegaanyi omwana wa Judith Babirye n’agamba nti ye talina mwana yenna mu Babirye. Ssebulime obutazaala mwana yenna mu Babirye yagiwaddeyo mu kkooti ng’ensonga okuwagira okusaba kwe baawukane.

Babirye1703422 703x422

MUBAKA Paul Musoke Ssebulime 45, yeegaanyi omwana wa Judith Babirye n’agamba nti ye talina mwana yenna mu Babirye.

Ssebulime obutazaala mwana yenna mu Babirye yagiwaddeyo mu kkooti ng’ensonga okuwagira okusaba kwe baawukane. Okusaba kwa Ssebulime, kkooti yakukkirizza bwetyo n’ebagattulula mu bufumbo.

Ssebulime yawasa Babirye nga July 27, 2018 ku mbaga eyali ku wooteeri ya Las Vegas e Bunga mu Munisipaali y’e Makindye.

Okubagattulula kuddiridde Ssebulime akiikirira Buikwe North mu palamenti okwekubira enduulu  mu kkooti etawulula enkaayana z’amaka e Makindye ng’agamba nti takyalina mukwano na Babirye era tebakyasobola kubeera bombi.

N’agamba nti tewali na kibagatta kubanga teyamuzaalamu mwana era tebalina byabugagga byonna bye baakola bombi ebyetaagisa okugabana.

Kino kyongedde amaanyi mu biyitihhana  nti omwana wa Babirye gwe yazaalira mu Amerika wa musajja mulala.

Ye Ssebulime agamba nti talina mwana yenna mu Babirye era baasembayo okulabagana nga December 22, 2018.

Baagattuluddwa  Omulamuzi Olive Kazaarwe Mukwaya eyategeezezza nti mu kusala omusango, kkooti yeesigamye ku bujulizi bwa Ssebulime bwokka. K

ubanga Ssebulime bwe yatwalayo omusango  ne Babirye yamanyisibwa era n’akkiriza ng’afunye ebiwandiiko byonna ebikwata ku mpaaba ya Ssebulime.

Ate Babirye bwe yaweebwa omukisa okuwa oludda lwe yasirika busirisi n’ateewozaako. Mu mpaaba ye, Ssebulime yagambye nti okuba lwe baafumbirigan wa yeegatta ne Babirye mu nsonga z’abafumbo emirundi gibalirwa ku ngalo  ate nga Babirye akikola kw'olwo lwokka ye lw’ayagadde.

Bwe baava ku mbaga yaabwe, baasibira mu maka ga Ssebulime agali e Naalya okumpi n’e Namugongo. Babeera bombi okumala emyezi ebiri egyawera mu August 2018.

Babirye yava awaka okumala emyezi ebiri n’akomawo nga  December 1, 2018.

Kyokka awaka yamalawo ennaku  ntono n’agenda nga December 22, 2018. Okuva olwo Babirye teyadda wa Ssebulime okutuusa kati. Wabula we yaviira ewa Ssebulime, Babirye yali alabika ng’omulwadde era nga mwennyamivu.

“Emirembe gyali gimuweddeko kubanga yali  alemeddwa okufuna olubuto ate nga kye yali asinga okwagala nga tebannaba na kufumbiriganwa”, Ssebulime bwe yategeezezza mu bujulizi bwe mu kkooti.

N’ebbanga ettono lye baamala bombi, Ssebulime agamba nti nalyo lyali zzibu kubanga Babirye yavanga awaka n’agenda n’aggyako essimu n’amala ennaku nga ssatu nga takomyewo.

Olumu Ssebulime yasaba Babirye alondeko kimu okubeera sereebu oba omukyala omufumbo.

Kyokka Babirye teyamwanukula, yatambula butambuzi n’agenda. Ng’olumu Babirye aboggolera Ssebulime ng'ali mu bantu.

Yawadde ekyokulabirako lwe baali mu kakiiko k’ebyettaka akakulirwa Omulamuzi Catherine Bamugemereire, “Babirye yamboggololera mu maaso ga balooya bange ng’ensi yonna eraba.” Ekirala, Ssebulime agamba: Babirye abadde tanneesiga.

Yatuuka n’okunnekengera nti nnyinza okuganza muwala we era omwana waffe gwe nnamusanga naye.

Yagaanaga muwala we okusula awaka ng’ajja misana akawungeezi n’agenda nga Babirye agamba nti nze Ssebulime nnyinza okumuganza.

“Emirembe gyanzigwako bukya mpasa Babirye. Yangobako emikwano gye yansanga nagyo ng’atya nti abamu nja kubaganza. Ate ne Babirye yennyini bukya ava waka saddayo kumuwuliza, teyafaayo kumbuulira gy’ali, teyankubira ku ssimu wadde okumpandiikira obubaka ku ssimu oba okuntumira omuntu,” bwe yannyonnyodde.

N’agamba: Oweekitiibwa omulamuzi nsaba otugattulule kubanga okuva December 2018 nze ne Babirye tetuwuliziganya.

Ekyo kinkosezza nnyo ng’omusajja eyakeera n’awasa omukazi okunsanyusa. Tetwegatta naye mu by’omukwano, yangobako mikwano gyange, tampa kitiibwa era nga naye yennyini ebikolwa bye biraga nti obufumbo takyabwetaaga.

“Tewali nsonga nkulu etusiba kubanga tetulina mwana atugatta. Ebyobugagga buli omu alina bibye, tetulina bye twakola babiri mu bbanga ettono lye twakamala mu bufumbo. Sirina kye njagala ku Babirye okuggyako okuddamu okufuna emirembe gyange naye mmulekere egigye,” bwe yategeezezza.

Ng’awa ensala, omulamuzi Olive Kazaarwe Mukwaya  yagambye nti olw’okuba Babirye teyayanukula nga bamuyise okwewozaako, kkooti esazeewo okwesigama ku bujulizi bwa Ssebulime bwokka.

Obujulizi kuliko ebifaananyi by’okwanjula ebiggyayo obuwangwa bwe baayambala engoye z’ekinnansi nga Babirye ayanjula Ssebulime eri abazadde be.

Bino bimala okukasa omulamuzi nti kituufu obufumbo bwaliwo. Ekirala looya wa Ssebulime Innocent Ngobi Ndiko eyalaga nti Ssebulime  yakosebwa nnyo mu birowoozo olwa Babirye okumumma omukwano, okumusuulawo, obutamuwa kitiibwa, okumunyooma.

N’agamba nti ebintu bino bwe bibula mu maka tewaba bufumbo. N’agattako nti okukakasa nti babirye munyoomi, yagaana n’okwanukula kkooti ng’emuyise wadde okuwaayo okwewozaako kwe.

Era tewali mulundi gw’alaga nti yagezaako okutabagana ne bba. Omulamuzi yasazeewo obufumbo busazibwemu era Babirye tajja kusasula mutango gwonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Time 220x290

Ebipya bizuuse ku nfa ya Nabukenya...

ABAALABYE akabenje akaavuddeko okufa kw’omuwala wa People Power, Ritah Nabukenya bye boogera bikontanye ne lipooti...

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira

Abetz 220x290

Abtex totya abasajja tubalina -...

POLIISI yagaana Bobi Wine okuddamu okulinnya ku siteegi. Bino byagenda okubaawo ng’abategesi b’ebivvulu, Abbey...