TOP

Mukyala muto alumba omukulu

By Musasi wa Bukedde

Added 21st January 2020

SSENGA nnina bakyala ababiri, naye omukyala omuto alina ekizibu nti ayagala nnyo okulumba munne ate nga nabagamba nti buli omu alina ewuwe kale teri kulinnya wa munne.

Ssengalogo 703x422

SSENGA nnina bakyala ababiri, naye omukyala omuto alina ekizibu nti ayagala nnyo okulumba munne ate nga nabagamba nti buli omu alina ewuwe kale teri kulinnya wa munne. Ekirala era omukyala omuto alina ekizibu nti buli kiseera agamba nti nkyawe mukyala omukulu. Ssenga omukyala ono oba muleke.

Ono nga muzibu ayagala kuwamba buwambi. Yasangawo mukyala mukulu era namugumira naye ye tayagala kugumira munne. Abakyala abangi ennaku zino balina embeera eyo ey’okuwamba abasajja.

Omusajja bw’afuna omukyala owookubiri oba owookusatu tekitegeeza nti abakyala
abalala abo be yatongoza tabaagala.


Singa yali tabaagala yandibadde abagoba. Era bw’olaba omusajja ng’omukyala omukulu amussaamu ekitiibwa kitegeeza oyo musajja ddala era naawe nga bw’akufunye tagenda kukuyisa bubi.

Ate oba mwenna mulina we mubeera ono musajja ddala ategeera embeera ez’okutambuza abakyala abasukka mw’omu. Kati akugambye tolumba munno lwaki togendera ku mateeka ga mukama wammwe.

Ate kati otandise okumugamba aleke omukyala omukulu ssinga obadde gwe?

Weebale kubeera mugumu ku nsonga eno era weeyongere okunywera ono alina ekigendererwa kirala nnyo. Ennaku zino abasajja abangi balina abakyala abasukka mw’omu naye tebamanyi kufuga maka gaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam