TOP

Lwaki saagala kwegatta?

By Musasi wa Bukedde

Added 21st January 2020

NNINA ekizibu saagala kwegatta na musajja yenna. Mu kusooka nnali ntya siriimu naye kaati ntya abasajja saagala kwegatta era bandekawo.

Ssengalogo 703x422

NNINA ekizibu saagala kwegatta na musajja yenna. Mu kusooka nnali ntya siriimu naye kaati ntya abasajja saagala kwegatta era bandekawo. Kati abasajja be nsinga okufuna bonna tebali siriyaasi baagala kunkozesa kubanga ndi mukyala mulungi. Nkoze ntya?

Mwana wange oli mukyala oluusi kizibu okwewala abasajja obutukozesa.


Abasajja abamu batandika bulungi ng’olaba alina omulamwa naye oluvannyuma n’akyuka n’atandika okukukozesa nga tomanyi kubanga ebiseera bingi abakyala babeera mu mukwano ng’ ebisinga tebabiraba.

Ate n’ekirala kizibu okumanya omuntu yenna ky’alowooza. Oluusi oyinza okulowooza nti munno akwagalira ddala naye ng’alina pulaani gy’aliko era nga bw’afuna ky’ayagala agenda kulekawo.

Kino tekiri ku basajja bokka ennaku zino naye n’abakyala bangi bakozesa abasajja.

Omukazi akulaga nti akuliko naye nga baagala ssente oba kubabba. Kale ekyokutya
okwegatta kubanga bagenda kukukozesa sooka okiteeke ku bbali.

Kubanga endowooza eno egenda kugaana n’okunyumirwa omukwano ng’olowooza nti buli akukwana ayagala kukukoseza ate nga si bwekiri.

Sigaanyi olina okwegendereza naye ate bw’otandika okwegendereza ennyo weesanga nti tolina gw’ofunye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Un 220x290

Abooluganda lwa Nabukenya owa Poeple...

OMUBAKA wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, asinzidde mu kuziika, Ritah Nabukenya...

Time 220x290

Ebipya bizuuse ku nfa ya Nabukenya...

ABAALABYE akabenje akaavuddeko okufa kw’omuwala wa People Power, Ritah Nabukenya bye boogera bikontanye ne lipooti...

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira