TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Tetuzze kugoba balimira mu Lwera - Omubaka Munyagwa

Tetuzze kugoba balimira mu Lwera - Omubaka Munyagwa

By Ssennabulya Baagalayina

Added 21st January 2020

Dayirekita wa NEMA, Dr. Tom Okurut yatangaazizza nti abakugu baabwe baasooka kwekenneenya ttaka lino nga tebannawa lukusa Abachina okulikolerako ne bakizuula nga teririna kakwate konna ku ttaka ery’entobazzi.

Weblweranew 703x422

Ababaka ba Palamenti nga balambula Lwera.

Ababaka ba Palamenti abatuula ku kakiiko ka COSASE akalondoola ensaasaanya ya ssente mu bitongole bya Gavumenti akakulirwa Mubarak Munyagwa baalambudde olutobazzi lwa Lwera okulaba engeri gye lutyoboddwaamu.
 
Mu bye bataddeko essira mulimu ebirombe by’omusenyu ga baakizudde ng’abantu abasinga baalekeraawo okugusima newankubadde nga wakyaliwo abatono abakyesisiggirizza.
 
Kuno bazzizzaako ennimiro z’Abachina aba Zongs Industries ng’okusinga balima muceere kwe bagattiriza ebirime ebirala okuli n’ebitooke ezaabalambuziddwa Peter Gan ne maneja Victor Mpinga.
Abakulembeze b’e Kalungu okuli RDC Careb Tukaikiriza, omumyuka we Hajjati Sarah Nanyanzi, Sipiika Abdu Bbaale Mayanja ne Mmeeya wa Lukaya, Gerald Ssenyondo baabaddewo.
 
Munyagwa yabategeezezza nti ekyabatutte kwe kwongera okwekkaanya ebyassibwa mu lipooti y’akakiiko k’ebyobugagga eby’omu ttaka n’okukkaatiriza eddoboozi lya Pulezidenti ku kutaasa entobazzi.
 
“Tetuzze kuggalawo oba okukwata omuntu yenna wabula okwongera okuzuula ebituufu ku lutobazzi lwa Lwera nti ebirukolerwamu tebikosa nnyanja Nalubaale awamu n’abantu abagyetoolodde”, Munyagwa bwe yaggumizza.
N’agattako nti, “tukkiriza nga Pulezidenti alondebwa abantu bw’avaayo n’eddoboozi nti entobazzi zirina okutaasibwa ku bazityoboola waakiri zirundirwemu byannyanja byokka, ffena tulina okumuwagira”.
 
Munyagwa n’abakakiiko baategeezezza nti enninga basinga kugissa ku ba NEMA kuba be bagaba layisinsi era abakwatibwako byonna ebikolebwa mu ntobazzi za Uganda nga si Lwera yokka. Baategeezezza nti kye banoonyerezaako by’ebigambibwa nti Abachina beeyongezza ettaka okuva ku lyabaweebwa nga kati balimira mu kifo kigazi ddala.  
 
Ebirala bye banoonyerezzaako bye bigambibwa nti eddagala lye bakozesa mulimu ery’obulabe eri obulamu bw’abantu n’eri  ennyanja bino nga babifuna okuva mu bantu ssekinnoomu ababatuusaako okwemulugunya.
 
    Dayirekita wa NEMA, Dr. Tom Okurut yatangaazizza nti abakugu baabwe baasooka kwekenneenya ttaka lino nga tebannawa lukusa Abachina okulikolerako ne bakizuula nga teririna kakwate konna ku ttaka ery’entobazzi.
 
Okurut yannokoddeyo eky’amazzi n’agamba nti awabalibwa okubeera entobazzi, gabeererawo ddala nga n’ekitakataka ekizibeeramu kyawukanira ddala n’ekyolusenyi. Yakkiriziganyizza n’ebyayogeddwa Sipiika Mayanja ne Mmeeya Ssenyondo nti amazzi g’olusenyi kati olwafuuka ennimiro, gaggyangawo mu biseera by’omujjuzo ne gakalira mu bbanga ttono. Omuchina Peter Gan ne maneja we Mpinga baggumizza nti mukama waabwe Zhong okugula ettaka lino waaliwo bisaka n’ebiswa omwalundirwanga ente n’abaalirimirangako.
 
Ssentebe wa LCI Magezi Cell, Safe Mayanja atwala n’ennimiro ne Mmeeya Ssennyondo baategeezezza nti Bamusigansimbi bano boongedde ettoofaali ku nkulaakulana y’ekitundu ku misolo n’okuwa Bannansi emirimu. 
 
“Tetugaana muyinza okubaamu obumulumulu naye tunoonye engeri gye tuyinza okutereeza so si kuggyawo kkolero ne ffaamu ne tufiiriza abagiganyulwamu”, Mayanja bwe yakkaatirizza yaakwo ate ne twongera ennaku mu bagiganyulwamu”,Sipiika Mayanja bwe yakaatirizza.
 
     RDC Tukaikiriza ne Sipiika Mayanja baasabye Munyagwa ne babaka banne ensonga za Lwera bazikwate kisajjakikulu nga bafulumya lipoti eteesigamiziddwa ku ndowooza z’ebyobufuzi ekiyinza  okukotoggera enkulaakulana.
    Dr. Okurut yabalaze maapu gye baafulumya ku ttaka lino ng’eraga nti obugazi bw’ettaka eryagulwa Abachina tebabussukangako ng’ekitundu ekimu kiri mu mazzi amangi ge batasobola kulimiramu.
 
Munyagwa n’abakakiiko baawabudde nti wadde omuceere n’okuwa abantu emirimu byetaagibwa naye balina n’okussa mu nkola ekiragiro kya Pulezidenti eky’okwamuka entobazzi zonna zirundirwemu byannyanja byokka.
Baalagidde NEMA eddemu okwekenneenya ennimiro zino n’ebitundu ebirala byonna mu Lwera n’eggwanga lyonna okuzuula ebisobye bitereezebwe.
 
Wabula Munyagwa yaddiddemu ab’omuceere n’agamba nti bali waddewaddeko kuba bagulimira ku ngulu ekitali ku basima musenyu abasima wansi ne batuuka n’okunafuya oluguudo ne lubbomoka.
      “Nga tumaze okwetoolola entobazzi zonna, bye twekkaanyizaako tugenda kubifulumya mu lipooti tugyanjulire Palamenti esalewo eky’enkomeredde”, Munyagwa bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Troubled 220x290

Oulanya agugumbudde abazadde abataweerera...

Omumyuka wa sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanya agugumbudde abazadde abeesuuliddeyo ogwa nnaggamba okuweerera abaana...

Young 220x290

Abalokole batadde Gavt. ku nninga...

ABASUMBA b’abalokole batadde gavumenti ku nninga okubawa layisinsi ezibakkiriza okugatta abagole wabweru w’ekkanisa....

Kolayo 220x290

Bayisizza bajeti ya bukadde 200...

ABASUUBUZI mu Kikuubo ne Nabugabo bakungubagidde maama w’omugagga Moses Kayongo nnannnyini Mt. Zion Hotel esangibwa...

Kola 220x290

Agambibwa okubba kasooli bamukubye...

ABASERIKALE ba LDU baliko omuvubuuka gwe bakutte lubona mu lusuku ly’omutuuze ng’abba kasooli ne bamukuba amasasi...

Okutulugunya abakyala kweyongede...

Joan Nakilanda nga ono Alina emyaka 21 yafumbirwa nga alina omyeka 17 era nazala omwana we asoka neba. Oluvanyuma...